Bya Musasi Waffe
Kampala
Eyaliko omuduumizi w’eggye lye ggwanga li UPDF, Gen. Mugisha Muntu agamba nti eggye lya UPDF lyava dda ku kigendererwa ekyabatwala mu nsiko kuba kati likola kusanyusa muduumizi walyo ow’okuntikko nga terikyalina bwetengeredde.
Bino Gen. Mugisha Muntu abyogeredde mu Kampala ku Mmande bw’abadde ayogera ku lunaku ;wa Tarehe Sita, eggye lya UPDF bweribadde mukujaguza emyaka 42 bukya litandikibwawo n’ekigendererwa eky’okununula bannayuganda.
Gen. Mugisha Muntu ategeezezza nga bwebalumba ensiko okununula bannayuganda ku gavumenti ezaali zirinyirira eddembe ly’obuntu naye byonna byaddamu dda nga n’obukulembeze bwe ggwanga bukyalemye okudda mu mikono gya bannansi.
Mugisha Muntu agamba nti UPDF yabula okuva ku kigendererwa nga kino kize kikolebwa bannabyabufuzi abenoonyeza ebyabwe. Okusinziira ku Mugisha Muntu bannamagye tebandibade nabuzibu kubanga bangi batendekedwa wabula bayingiziddwamu ebyobufuzi nebava ku kuweereza eggwanga nebatunulira omukulembeze w’eggwanga n’ebigendererwa by’ekibiina ekimu.
Ku nsobi ezeyongede eggye ly’eggwanga n’ebitongole ebikuuma ddembe gamba ng’okuwamba abantu, okutulugunya abatayina musango nebannamagye okwenyigira mu kibba ttaka …Mugisha Muntu agamba nti ekizibu kivude ku muduumizi w’okuntiko okutamiira obuyinza n’asigaza kimu kyoka kyakutunulira ntebe ye ekise ebitongole ebirala.
Gen Muntu annyonnyodde nti Uganda eri mukaseera kazibu nnyo okusobola okukyusa obukulembeze mu mirembe naddala mu kiseera ng’eggye lye ggwanga teryetengeredde nasaba amagye gaggyibwe mu by’obufuzi era gadde ku nnono y’okussa ekitibwa mu ddembe ly’obuntu.