Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Bulange
Obwakabaka bwa Buganda mu kwongera okusitula omutindo gw’ebyobulamu mu bizinga, bwabangawo enteekateeka y’okufuna eddwaliro ery’okumazzi era nga lino ligenda kutuumibwa Muteesa II Hospital.

Enteekateeka eno eviira ddala mu bubaka bw’amatikkira ga Ssaabasajja ag’omwaka 2018, mwe yalagira wabeewo okutereeza ensonga z’ebyobulamu mu bizinga , okusobola okwanguyizaako abantu mu bitundu ebyo okufuna obujjanjabi obulungi.Obwakabaka bwa Buganda nga bukolagana ne Rotary buliko webutuuse ku nteekateeka eno era buyise Bannamawulire okubategeeza omutendera ogutuukiddwakoku nsonga eno.
Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Ahmed Lwasa ono nga ye Ssentebe w’Olukiiko lw’omukago wakati w’Obwakabaka ne Rotary, mu bubaka bwe agambye nti oluvannyuma lw’okufuna ekiragiro kya Kabaka, Minisita avunanyizibwa ku nsonga za Buganda ebweru yasisinkana abakulembeze mu gamu ku masaza ga Buganda agali mu America ku nsonga eno ey’okugula eryato eridduukirize, nti era bano nga bayita mu Mwami Paul Kiruuta, bakkiriza okutambula n’Obwakabaka mu nsonga eno, nga era mu mwezi guno ogwa Ntenvu baatuukirizza obweyamu bwabwe.

“Mu mwezi guno ogwa Ntenvu, (December) 2025, Rotary International yakakasizza nti egenda kutukwasizaako okufuna eddwaliro ery’okumazzi eriweza ensimbi akawumbi kamu , n’obukadde lukaaga , (1.6) billion. Ng’enkola bweri nannyini mufu yakwata awawunya, ku nsimbi ezo Buganda amakula essaza lya Northern California ne Nevada bakutoola ensimbi obukadde 109, 500,000(obukadde kikumi mu mwenda , n’emitwalo ataano, ate Rotary club eya Antioch, ejja kutoola obukadde 60, 225,000( obukadde nkaaga mu emitwalo abiri mu ebiri mu enkumi ttaano, Rotary club eya Kampala Ssese Island yakuleeta obukadde abiri (20,000,000), waliwo ne bannamikago abakolagana ne rotary bakutoola ensimbi (711,750,000)” Owek. Ahmed Lwasa.
Owek. Ahmed Lwasa bwatyo asabye Banna-Rotary, wamu n’abantu abalala abasola okuyambako , okulaba nga baweereza ensimbi , okulaba ng’omulimo guno guggusibwa mu bwangu.
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka Owek. Yozefu Kawuki, agambye nti eryato lino lijja kutuuka mu bitundutindu, bwatyo n’asaba atwala essaza Ssese ewagenda okuzimbirwa eryato lino, okukunganya abavubuka abakozi era abeesimbu , abanayigirizibwa okuzimba eryato lino .
“Mukama wange ayogedde ku kuzimba eryato n’okuyigiriza abantu, mu ndagaano gye twakola n’aba Rotary, mwalimu obuvunaanyizibwa obutali bumu, Ow’essaza Ssese olina obuvunaanyizibwa okuteekateeka abavubuka abakozi era abeesimbu ate aboogi abanaayigirizibwa okuzimba eryato”.Minisita Kawuki.
Ye Gavana wa Rotary eyawummula Hon .Micheal Kennedy Ssebalu, ategezeezza nti ebyo byonna bye beyaamye okukola mu nteekateeka y’okuzimba eddwaliro lino bajja kubituukiriza.Mu

Mu kufuba okulaba nga ensimbi ez’okuyambako mu kuzimba eryato lino zifunibwa, watereddwaawo amakubo ag’okuyitamu okuweereza ensimbi, era nga ezimu ku nkola zino kwekuli eyokukozesa Global Grant #2462408 ng’omuntu ayita ku mutimbagano gwa Rotary.









