Bya Ssemakula John
Ebitongole by’ebyokwerinda biyungudde abawanvu n’abampi ne boolekera ekizinga ky’e Kalangala okunyweza eby’okwerinda wakati nga munnakibiina kya National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), anoonya akalulu akamuteeka mu ntebe ennene.

Kyagulanyi yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire e Kamwokya eggulo n’ategeeza nti waakuddamu okunoonya akalulu olwaleero e Kalangala oluvannyuma lw’okuyimiriza kkampeyini ze ng’awakanya eky’okutta omukuumi we Frank Ssenteza.
Ebimotoka bya poliisi bigunduuza, bakuntumye awamu n’abapoliisi abawerako, bakedde kuteekebwa ku kidyeri kya MV Ssese okwolekera ekitundu kino.
Waliwo ennyonyi erabiddwako ng’erawuna obwengula ku kizinga kino okwetegereza embeera.
Kyagulanyi ku Lwokubiri yalangiridde nti agenda kwongera okukuba enkung’aana ze ne mu disitulikiti 12 aba kakiiko k’ebyokulonda gye bagaanye kkampeyini.
“Ngenda kutuuka ku bawagizi bange mu ngeri yonna esoboka, mu buntu oba mu ngeri ya Ssaayansi.” Kyagulanyi bwe yalayidde.
Okusinziira ku Ssaabawandiiisi wa NUP, Louis Lubongoya, Kyagulanyi leero agenda kubeera Kalangala ate enkya ku Lwokuna abeere e Mpigi ne Bukomansimbi.








