Bya Stephen Kulubasi
Japan
Ebyobuwangwa bw’Abaganda bikyamudde abazungu n’abantu abenjawulo abeetabye mu mwoleso gwa JATTAEXPO oguyindira e Japan nga guno leero lwegutandise mu butongole era abasinga beeyiye ku mudaala ewolesezebwa ebintu bya Buganda okwongera okubinnyonnyoka.
Mu bisinze okuwuniikiiza abantu n’okusanyusa mulimu endeku, ebibbo ebiwunde mu ngeri esamaaliriza, engoye nga Gomesi era bakira abakyala bazambala nebazekubisizaamu ebifaananyi u ngeri y’okukuuma ebyafaayo
Obwakabaka bwa Buganda bwetabye mu mwoleso guno nga buyita mu kitongole kya Buganda eky’Obulambuzi n’ekigendererwa eky’okusikiria abantu b’amawanga ag’enjawulo okujja okulambula kuno nga bayita mu kubalaga eby’obulambuzi n’ebyafaayo ebiri mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.Okusinziira ku kitongole kino, ebintu bingi ebigenda okwolesebwa naye bagenda kusoosowaza Amasiro ge Kasubi balage wegatuuse mu kiseera kino. Omwoleso guno gugenda kukomekkerezebwa ku Sande ya sabbiiti eno