Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Bulange
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Kabaka obuteyawulayawula mu mu biseera by’akalulu akabindabinda n’ebyobufuzi ebikutte akati mu ggwanga.
Kamalabyonna wa Buganda obubaka buno abutisse Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Olukulu Oweek. Ahmed Lwasa atikkudde oluwalo olusobye mu bukadde 23 okuva mu Bannabulemeezi abakiise Embuga mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro Mayiga agamba nti abantu ba Kabaka tebalina kukkiriza kweyawulayawula lwa byabufuzi kubanga bya kiseera buseera era bbo bagenda kusigala nga bakwatagana nga akalulu kawedde.
“Mulirwana wo togenda kumusengula kumuggya mu nnyumba gy’asulamu era mugenda kusigala nga mukolagana nga akalulu kawedde kubanga omwetaaga.” Katikkiro.
Kamalabyonna era asabye abantu ba Kabaka bano okukuuma emirembe nga bakoma kw’abo abavaako obusambattuko n’okutabangula emirembe kisobole okubatuusa ku birungi bye balafuubana okutuukako okugeza nga okufuna abassizi b’ensimbi mu kitundu, okukungula emmwanyi zaabwe awatali babbi baazo n’ebirala.
Owoomumbuga yebaziza nnyo Bannabulemeezi olw’omutima ogufaayo okuzimba emirimu egikolebwa Embuga nga bayita mu kuwaayo oluwalo, okwetaba mu mpaka z’emipiira gy’amasaza n’ebirala era abasabye okusiga omutima guno ogwagala eggwanga lyabwe mu baana abato basobole okutambuza Buganda ng’edda mu maaso.

Omwami wa Ssaabasajja Kabaka ow’essaza Bulemeezi Kkangawo Oweek. Ronald Mulondo akulembeddemu abakiise Embuga, asabye abantu ba Kabaka okubeera obwerinde eri akawuka ka mukenenya akasaasana mu ssaza lyabwe n’akubiriza abaami okubeera abasaale okutaasa omwana omuwala nga Ssaabasajja bw’abakuutira.
Ye Minisita Omubeezi owa Kampala Kyofatogabye Kabuye naye atambudde ne Bannabulemeezi abakiise Embuga, yeebaziza nnyo Katikkiro olw’okwogera entakera ku nsonga ezisiiwa abantu ab’enjawulo mu ggwanga lino era yeyamye ku lwa bannabyabufuzi bonna mu ssaza lino okukwatagana ne Kkangawo okwongera okuwagira ensonga z’essaza zonna n’Obwakabaka okutwaliza awamu.
Eggombolola ezikiise Embuga kuliko ez’e Bulemeezi; Mut. V Wabusaana, Mut. VII Bamunanika, Mut. VIII Kikamulo, ne Mut. IX Kamira, ababaka ba palamenti okuli Minisita Kyofatogabye Kabuye, Hon. Robert Ssekitoleko n’abantu abalala okuva mu ssaza lino.









