
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Twaha Kaawaase Kigongo atikudde oluwalo okuva mu Bannabugerere lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 10
Oweek. Kaawaase asinzidde ku mukolo guno mu Bulange e Mengo n’alabula abantu ba Kabaka okufaayo ennyo okulonda bannabyabufuzi abawagira enteekateeka z’Obwakabaka ate n’okwegendereza ebyobufuzi obutabaawulayawula kubanga bibeera bya kiseera buseera.
“Mwandikomekereza nga abantu bemusizeemu obukyayi ate nga gye muddukidde okusaba obuyambi,” Oweek. Kaawaase.

Prof. Kaawaase asabye Mugerere Owek. Samwiri Ssemugooma okuzimba obukulembeze obunywevu mu ssaza ly’e Bugerere nga ayita mu kukubiriza abaami ba Kabaka okuwuliziganya okuviira ddala wansi ku byalo era wabeewo n’okukwataganira awamu mu bantu babeere bayiiya ennyo nga bakozesa tekinologiya mu mirimu gye bakola.
Owek. Israel Kazibwe Kitooke ku lwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu atenderezza abantu b’e Bugerere okukiika Embuga wakati mu bisomoozo by’okufiirwa ebirime byabwe olwa sizoni y’okulima ennanansi eyakubibwamu omusana omuyitirivu wabula abasabye obutagwamu maanyi, babeeko bwe basalira ensonga eno amagezi naddala nga bettanira okufukirira.

Mugerere Owek. Samwiri Ssemugooma akulembeddemu abakiise Embuga asabye Katikkiro okutuusa okusiima kwabwe eri Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa kkalakita, essomero ly’abaana ba “Nursery”, nensisira z’ebyobulamu ebibalaze nti Nnyinimu abafaako nnyo.
Eggombolola nnya (4) ze zireese oluwalo okuli; Musaale Kangulumira, Ssaabawaali Galiraya, Mutuba I Kitimbwa ne Mutuba III Busaana era nga bawerekeddwako n’Omubaka wa Palamenti Hon. Patrick Nsanja.
