
Bya Ronald Mukasa
Kampala – Kyaddondo
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo wano mu ggwanga ki UNEB kifulumiza ebyavudde mubigezo bya siniya ey’omukaaga olwaleero nga biraga nti abayizi abasoba mu mitwalo 10 beebayiise ebigezo bino era ng’abayizi bakoze bulungi okusinga ku mwaka oguwedde.
Abayizi emitwalo 52,452 bayise n’obubonero 3 (3 principal passes) ate bannabwe 28,191 nebafuna 2 (2 principal passes) ate abalala 18,624 bayise nakabonero 1 ( 1 principal pass) abayizi abalala 9225 bayise kulugwanyu songa 996 ebibuuzo byabammezze.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Ssentebe wa UNEB Daniel Odongo ategeezezza nga abayizi ebitundu 99 ku buli kikumi bwebayiise ebigezo bino.
“Bwekiba nga amatendekero agawagulu gakyalina enkola eyokuwa abayizi ebifo okutandikira kubafunye obubunero 2, olwo abayizi baffe 80643 bano nga bakola ebitundu 73.7 ku buli kikumi bakirizibwa okweyongerayo mu matendekero ago bwogerageranya ne bannabwe ab’omwaka gwa 2022 abaali 67815 nga byebitundu 70.3 ku buli kikumi,” Odongo bw’agambye.
Odongo agasseeko nti abayizi abawala bakoze bulungi okusinga bannabwe abalenzi mu bigezo bino. Wabula ono alaze okutya olw’abayizi abawerera ddala 1065 abataalabikako kutuula bigezo byabwe.
Omukolo guno guyindidde mu maka g’Obwapulezidenti e Nakasero mu Kampala nga bino birangiriddwa minisita w’ebyenjiriza n’ebyemizannyo, Janet Kataaha Museveni era nga gwetabiddwako Minisita JC Muyingo nabakungu ba UNEB abalala.