
Bya Ssemakula John
Kampala
Minisita omubeezi ow’ensonga ze Karamoja, Agnes Nandutu aziddwaayo ku alimanda okutuuka enkyanga May, 4 2023 ensonga ye ey’okweyimirirwa lwenaddamu okuwulirwa.
Nandutu abadde aleeteddwa mu kkooti ku Lwokusatu nga aleese n’abantu basatu abasobola okumweyimirira mu kkooti ewozesa Abakenuzi mu Kampala.
Bano kubaddeko omubaka Nandala Mafabi naye omuwaabi wa gavumenti Jonathan Muwaganya awakanyiza eby’okumuyimbula nategeeza nti mu kaseera webaali bamunoonyeza yasuulawo emmotoka ye ey’obwaminisita, naava mu makaage era nabakuumi be baali tebamanyi gy’ali.
Kati omulamuzi Jane Kajuga alonze abakungu ba kkooti basatu okutunula mu nsonga eno era nateekawo olunaku lwa May 25, 2023 okuwulirako omusango omukulu ogw’okubulankanya amabaati agaalina okuweebwa abanaku e Karamoja naye negagabanibwa abakulu mu gavumenti.
Oludda oluwaabi mu musango guno nga lukuliddwamu David Bisamunyu ne Jonathan Muwaganya balumiriza nti mu mwezi gwa June w’omwaka 2022, Nandutu yasangibwa n’amabaati 2000 aga ggeegi 28 agaaliko obulambe bwa woofiisi ya Ssaabaminisita.
Minisita ono aziddwaayo e Luzira gyabadde ku alimanda okuva 19th April, 2023 okutuuka olunaku lw’enkya kkooti lwenatunula mu nsonga ye.