
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Akakiiko akateekebwawo Obwakabaka okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka okuzuula ensibuko y’enkaayana z’ettaka n’ekibbattaka oluvannyuma lwa gavumenti eyaawakati okulumiriza nga kino bwe kiva ku ttaka lya mayiro, kamalirizza omulimu gwako.
Ku Mmande Ssentebe w’akakiiko kano era Minisita w’emirimu egy’enkizo mu Bwakabaka, Owek. David Mpanga ayanjulidde olukiiko lwa Buganda olwa 29 olutuula olwokubiri ku byeb bazudde era n’akakasa nga eby’okusengula abantu n’okunyaga ettaka ly’abantu bwe bitalina kakwate ku ttaka lya Mayiro.
Akakiiko kazudde nti ebizibu ebiri ku ttaka ebituusizza n’okusengula abantu, si kizibu kya mayiro naye ebituli mu mateeka ssaako bannabyabufuzi okweyingiza mu ttaka olutatadde we wasinga obuzibu so si mayiro ekyavaako n’abamu okulaga nga bwe bagenda okuwera ettaka lya mayiro mu ggwanga.
Akakiiko kano ak’abantu 4 kakulirwa Owek. Daudi Mpanga ng’abalala abakaliko ye; Medard Lubega Sseggona, Luyimbaazi Nalukoola ne Dennis Bugaya.
Ssentebe w’akakiiko kano ategeezezza olukiiko nti ensonga eno baginoonyerezzaako okuva ku ndagaano ya 1900 eyakolebwa abafuzi baamatwale okuzuula, obungi bw’ettaka lya Buganda mu biti ebyenjawulo, Kabaka ettaka ly’alina lyenkana wa? Obungi bw’Ettaka eriddukanyizibwa Buganda Land Board n’abantu bameka abasasula obusuulu, ettaka lya Buganda eririko gavumenti eyaawakati, ssaako ebyapa b’obwannannyini obwenkomeredde ebiri mu Buganda.
Akakiiko nga katunuulira ensonga ezo, kaalagirwa okuvaayo n’okulambika eri gavumenti eyaawakati okutereeza ettaka lya mayiro.
Olwaleero akulira akakiiko, Owek. Daudi Mpanga ayanjulidde abakiise ba Buganda alipoota eno era n’alaga bye bazudde n’alaga nti obungi bw’ettaka obuliwo mu Buganda buyimiridde bwebuti;
Oluvannyuma lw’okupima obulungi, amasaza Buyaga ne Bugangayizi n’egazzibwa e Bunyoro, ettaka lya Buganda lyasigala ku mayiro 17,310.
Ettaka ly’obwannannyini oba Private Mailo – SQ.8506
Ery’Obwakabaka (Official Mailo) – SQ.558
Ettaka lya gavumenti eyaawakati – SQ.50 (Uganda Land Commission)
Ettaka ly’ebibira n’entobazzi – SQ.1500
Ettaka lya Buganda ery’olukale – SQ.6,183. Ettaka lino lyawambibwa gavumenti eyaawakati mu 1967 era ly’eryo obukiiko bwa disitulikiti kwe ligaba ebyapa ebiyitibwa Freehold ne Liizi.
Akakiiko kazudde nti ettaka ekika kino kwek usinga okugobwa abantu .
Mpanga alaze kalambise engeri ettaka gye liddukanyizibwamu ebitongole n’abantu ssekinnoomu.
Ery’obwannannyini – 8506 – 49.1%
Obukiiko bwa Disitulikiti obw’ettaka – 6,188 Ebitundu 35.7%
Erya Gavumenti eyaawakati – 1,550 – 8.9%
Eriddukanyizibwa Obwakabaka – 950 – 5.4%
Ekelezia n’Ekkanisa – 92 – 0.5%
Abasiraamu – 24 – 0.1%

Obwakabaka nga buyita mu kitongole Buganda Land Board bwakawandiisa abantu 315.000 ne baweebwa amabaluwa agakakasa obusenze ate abantu 71000 be baakapuntibwa mu kikungo so ng’abantu 21000 balina ebyapa bya liizi.
Okusinziira ku Minisita Mpanga, Omwaka gwa 2021 we gwaggweerako nga Buganda ebanja gavumenti eyaawakati ensimbi ezisukka obuwumbi 215 okuva mu bupangisa ku ttaka n’ebizimbe okuli ebitebe byayo, amasomero, amakomera n’ebitebe by’ebitongole ebitali bimu.
Okunoonyereza kw’akakiiko kuzudde era nti waliwo olukwe olwokuwera ettaka lya mayiro n’okuggyawo ebya Liizi ekitongole kya Buganda Land Board mwe kigwa, olwokulowooza nti bino bizing’amizza enkulaakulana. Ennyingo 237 ekitundu 3 mu Ssemateeka w’eggwanga ateekawo ettaka lya Mayiro n’ebika ebirala okuli Customary, Freehold ne Liizi. Owek Mpanga n’akakiiko ke balambise gavumenti nti okuwera ebiti ebibiri si kye kizing’amizza enkulaakulana.

Akakiiko kazudde ensonga 9 ezisibye emivuyo ku ttaka era gavumenti n’esabibwa by’eba esimbako omulaka bw’eba eyagala okuwonya bannansi okubungeeta n’okukaaba olutatadde olw’ettaka.
Muno mulimu; okuyisa olugaayu mu mateeka, Emivuyo mu w’ofiisi z’ebyettaka, obukuluppya, okuva ku nnono z’ettaka mu Buganda, okukaddiwa kwettaka, obunafu bw’ebitongole ebinoonyereza, obunafu bw’ekitongole ekiramuzi, ebyobufuzi mu nsonga z’ettaka, okweyongera kw’abantu.
Ku nsonga ya Mayiro alipoota eno esembye ebiteeso bino wammanga nga byesigamiziddwa ku bye bazudde mu kunnoonyereza kwabwe.
Obwakabaka bwetegefu okwogerezeganya ne gavumenti eyaawakati ku nsonga eno wabula kino kyakukolebwa mu mwoyo mulungi era mu bukkakkamu n’okuwag’ana ekitiibwa nga bwesigama ku bukugu n’okuwabula ku nsonga eno.
Ekirala, Buganda evumirira enkola yonna eyitibwamu okusengula ab’ebibanja ng’eryanyi ly’emmundu awamu n’ebitongole ebikuumaddembe nga bikozesebwa okutigomya abantu ababadde bawangaalira ku bibanja byabwe.
Buganda eyagala eggwanga liddizibwe ku musingi ogutambulira ku mateeka era ekyetaagisa kikolebwe okukugira abantu abagobaganyizibwa ku ttaka.









