Olwaleero Olukiiko lwa Buganda olutudde mu Bulange e Mmengo luyisizza ebiteeso ebyenjawulo. Minisita avunanyizibwa ku Lukiiko, Kabineeti, Abagenyi n’Amawulire, Owek. Noah Kiyimba afulumizza ekiwandiiko ekiraga ebiyisiddwa.
Kigamba bwekiti mubujjuvu
Olutuula Lw’olukiiko lwa Buganda No 02/27 olutudde olwa leero nga 02 Ntenvu 2019 mu Bulange Mmengo luyisizza ebiteeso bino wammanga.
1. Olukiiko lwebaza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olwa kaweefube gw’aliko ow’okulwanyisa mukenenya era n’okumugobera ddala mu Buganda ne Uganda yonna omwaka 2030 we gunaatuukira.
2. Olukiiko lwebazizza nnyo Katikkiro wa Buganda olw’emirimu egikoleddwa gy’ayanjulidde Olukiiko.
3. Olukiiko luyisizza enteekateeka ya Ssaabawolereza w’Obwakabaka ku nteekateeka z’okuteekawo enkiiko z’abayima mu Bika olw’okukuuma ettaka ly’ebika ettongole.
4. Olukiiko luyisizza enteekateeka z’ekitongole ky’Abagenyi n’emikolo ekya Buganda omuli enkola y’ekitongole n’ennambika y’emikolo mu Bwakabaka Bwa Buganda, n’ekigendererwa ky’okukuuma n’okunyweza Namulondo awamu n’okuggyayo emirwamwa n’ekitiibwa ky’Obwakabaka okunyweza obumu n’enkolagana ennungamu n’emikwano gy’Obwakabaka.
5. Olukiiko luyisizza enteekateeka za minisitule y’Obulimi, Obulunzi, N’Obwegassi n’ekigendererwa ekyokutumbula kaweefube wa Mmwanyi Terimba awamu n’okuzzaawo obwegassi mu Buganda.
6. Olukiiko lusembye kaweefube akolebwa Katikkiro ne Baminisita bonna ow’okuzzaawo Amasiro g’e Kasubi.
7. Olukiiko luyisizza ekiteeso nga lukubiriza Bannayuganda bonna okukebera enkalala z’okulonda era n’okufuna ndagamuntu basobole okuganyulwa mu birungi ebiri mu kuba ne ndagamuntu.