Bya Joseph Lukyamuzi
Bulange -Mmengo
Ssabbiiti ejja ku Mmande nga 10 /05/ 2021, Katikkiro Charles Peter Mayiga, asuubirwa okwogera ko eri Obuganda ng’asinziira mu Lukiiko, okutegeeza Buganda w’eyimiridde n’engeri gye tusobola okugenda mu maaso. Okwogera kuno kujja kufaafananako n’okwogera kwa Pulezidenti w’eggwanga (State of nation address), okuddirira embalirira y’eggwanga. Okwogera kuno kugenda kubaawo ng’ebula olunaku lumu okutuuka ku lwa 12/05/2013, Katikkiro Mayiga lwe yalangirirwa nga Katikkiro omulonde ng’adda mu bigere bya Yinginiya John Baptist Walusimbi.
Ate nga 29/05/2013, Katikkiro Mayiga lwe yakwasibwa Ddamula ku Wankaaki w’Olubiri e Mmengo.
Okwogera kwa Kamalabyonna okw’omulundi guno, kujjidde mu kaseera ak’omuyaga eri Buganda naye olw’okuba omulundi guno okwogera kwa Katikkiro Mayiga kuzze ebula mbale okujaguza emyaka egiwera 8 be eddu ng’anywezezza Ddamula, kisuubirwa nti ensonga zino wammanga tajja kuzibuusa maaso:
Buganda ku by’ebbanja Gavumenti eyaawakati n’enkolagana
Obwakabaka bw’alaze dda nti bwetegefu okuwawaabira Gavumenti yaawakati ku bintu byayo by’ebbanja awamu n’ebyo Gavumenti bye yazza kyokka ababirimu ne bagaana okubiwaayo. Obubonero bwonna bulaga nti mu mbalirira y’eggwanga eya 2021/ 2022 eri mu maaso ga Palamenti, tewa ssuubi ku kusasula ssente Buganda z’ebanja kuba tewali we zoogererwako.
Ensonga endala, y’engeri ekitundu kya Buganda gye kyalondamu oludda oluvuganya Gavumenti awamu n’ebyo ebyavaamu, abaana ba Buganda abasinga ne bamaliriza nga baggaliddwa mu makomero, batulugunyiziddwa awamu n’abalala okufiirwa obulamu. Katikkiro Mayiga ng’omulwanirizi w’eddembe kayingo, ensonga eno tetumusuubira kugibuusa maaso.
Wakati mu ebyo byonna ate kw’oteeka engeri abantu ba Buganda gye baalondamu mu kulonda okwakagwa, n’okutuuka kati buli lw’owuliriza omukulembeze w’eggwanga, alinga atakkiriza kyaliwo. Bw’aba waakulaga busungu bwe ayinza obutasobola kubulaga ku buli Muganda ssekinnoomu, wabula n’abwolekereza ekifo ekimu, entabiro y’Obwakabaka buli omu w’abeera atadde amaaso ng’eno ye Mmengo. Katikkiro anaayogera ku mbeera ngéno oba anaagyesulubabba?
Omulimu gw’Amasiro we gutuuse
Owek. Mayiga akoze bingi mu myaka gye omunaana (8) gy’akulembedde Obuganda, naye ekimu ku bikyagaanye okuva ku mmeeza y’ensonga y’okuzzaawo Amasiro.
Zino zisobola okuba ezimu ku nsonga abamulima empindi ku mabega kwe basinziira okumukolokota. Kyokka naye avuddeyo emirundi mingi n’ategeeza nti okuzimba Amasiro si kuzimba bizimbe nga Masengere.
Bwe yali ayogerako eri Obuganda, Katikkiro Mayiga yagamba nti omulimu guno gwetaaga obukugu obwenjawulo era nga n’ebikozesebwa birina okwegenderezebwa.
Yawa eky’okulabirako ky’eddaali ly’Amasiro, nti kino kirukibwa na ngalo era nga kuba nga kuluka munda wa kibbo mu mbeera eyaabulijjo. Naye ate ekisuubizo bbanja; bwe yali yaakalya Obwakatikkiro, Owek. Mayiga yeeyama okumaliriza Amasiro nga 16/03/2014. Ku lunaku lwennyini Muzibwazaalampanga lwe yali akutte omuliro mu 2010.
Wakati w’ebbanga eryo ne leero, wabaddewo ensonga era Mukuumaddamula azze akyusa obweyamo bwe era n’awa n’ensonga. Ku luno Owoomumbuga anaatuwa mawulire ki ku Masiro?
Anaalangirira nti gabulako katono okuggwa oba anaatuwa ebbanga eddala omulimu gwe gulina okuggweera? Naye ekimu ku bifaananyi ebisembyeyo okufuluma ku Masiro gano, Owek. Kyewalabye Male lwe yagalambudde, kiwa essuubi nti Mukuumaddamula asemberedde okutuuka ku kaguwa ku nsonga y’Amasiro.
Ekirwadde kya COVID-19 n’engeri gye kikosezza Obwakabaka
Tewakyali mukulembeze ayinza kufundikira kwogera kwe nga tayogedde ku kirwadde kya Ssennyiga Corona n’engeri gye kikosezzaamu emirimu.
Kumpi buli lw’abadde asisinkana abantu wonna w’abadde agenda, Kamalabyonna takooye kubasaba kwekuuma n’okumanya nti ekirwadde kya Corona kya bulabe era nga kikyaliwo.
Mu bbanga eritali ddene eriyise, Beene, Maama Nnaabagereka Nagginda, Katikkiro Mayiga ne baminisita, baalabiddwako nga beegemesa ekirwadde kino okunnyikiza akabi akava ku kirwadde kino n’obwetaavu obuliwo okukirwanyisa.
Ebyenfuna bya Buganda etasolooza musolo tebisobola kuba nga tebyakosebwa kirwadde kino. Kati nsuubira Mukuumaddamula okwogera ku nsonga y’emirimu egigootaanye olwa Corona awamu n’egyo egitondeddwawo kuba ndi mukakafu nti Corona minisitule, ebitongole ne kkampuni z’Obwakabaka teyazitaliza. Abakozi bangi beesanze tebakyalina mirimu olwe ngeri COVID-19 gye yakosa amakampuni ne bitongole gye baali bakolera. Sikiwa nti ebitongole by’Obwakabaka tebyasoomoozebwa mbeera eno.
Mu kwogera kw’abakulembeze okutera okumanyibwa nga “State of The Nation Address,” ensonga y’emirimu egitondeddwawo n’egisaanyeewo ebeera nkulu. Si ky’kiseera ne Katikkiro atandikenga okulambika ku nsonga eno mu Bwakabaka naddala ng’asinziira ku mbeera ngéno, ensi yonna gye yeesanzeemu?
Engeri abavubuka gye bakozesaamu omutimbagano
Ekizibu kino si kya Buganda yokka naye kkookolo asensera ensi yonna buli lukya. Mujjukira engeri eyali omukulembeze wa Amerika, Donald Trump, gye yayongera okwoleka ekizibu kino ng’agaanye okukkiriza ebyava mu kulonda.
Edda ng’ensi ekyalimu ensa, waaliyo ebirowoozo ebitaweebwanga ku kadaala. Si buli yalinanga kacica nti yafunanga omwagaanya okumuyisa ku mikutu nga; BBC, VOA, Reuters, Washington Post, CFI, SABC, UBC, CBS, Gambuuze, BBS TV, ne Nation Media. Ebirowoozo bya bano nga bisibira mu kasero.
Kati tokyasobola kuggalira birowoozo bya ‘balalu’ bweru kuba buli omu alina ekibanja ku mutimbagano ate y’asalawo ky’alina okufulumya, tebeetaaga musunsuzi waabyo. Y’ensonga lwaki abavuma bavuma, abalimba balimba n’abawemula tebatudde!
Omulimu munene okulimbulula abantu wamu n’okubazzaamu ensa era simanyi ddagala Katikkiro ly’agenda kuwa ku nsonga eno etadde Obwakabaka mu kaseera akazibu.
Be mpulira boogera, eddagala baliraba mu mateeka naye nze ndowooza nti ekizibu kino kisingako, kuba abasinga okutambuza kalebule ono bawangaalira bunaayira era nga gye bali, eddembe ly’okwogera ky’osanze, terikonwako nga kizibu okubavunaana.
Amateeka amaggya n’ensonga y’omusolo
Singa Buganda ebadde yafuna Federo gy’eyaayaanidde okumala akabanga, Katikkiro Mayiga yandyogedde ku mateeka ge yeeyama Gavumenti gy’akulembera okubaga, gamalewo ebisoomoozo.
Naye olw’okuba ye kennyini azze atujjukiza obutayimba bizibu, ku luno kye nsuubira kwe kulambika n’okuwabula Gavumenti ku mateeka agandibadde gakolebwa n’ago agabagiddwa awamu n’agayisiddwa, okusobola okukola ku bizibu ebiriwo.
Mwawulidde Pulezidenti Museveni nga yeewera bwe yasisinkanye bannakibiina kye ekya NRM mu lusirika e Kyankwanzi, okugonjoola kye yayita ensobi ezaakolebwa mu byafaayo. Museveni yagambye nti waakuddamu okwetegereza alipoota y’akakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire, abagemu ‘White Paper’ enaasinzirwako okukola etteeka eppya erikwata ku ttaka.
Naye mujjukira bulungi nti alipoota Omulamuzi Bamugemereire gye yasooka okufulumya yali eraga nti ekizibu kiva ku ttaka lya Mayiro era Obwakabaka bwa mwambalira ku nsonga eno kuba ettaka lya Mayiro okusinga liri mu Buganda.
Kati ggwe olowooza Mukuumaddamula etteeka Pulezidenti Museveni ly’ayagala okuleeta ku ttaka anaalyogerako oba nedda?
Okutta abantu awamu n’okubatulugunya
Kumpi buli lunaku waliwo omuntu akubwa amasasi ekyeyonoonere. Munnamawulire Kagoro yattiddwa aba LDU kyokka mu kaseera ke kamu, waliwo omuyizi w’essomero eyattiddwa abapoliisi olwa kafyu. Tuba tukyali awo ate abantu ne bakubwa amasasi mu ppaaka ya Namayiba wali nga ku katale k’ewa Kisekka.
Ensonga ya bakwatammundu engalo okuzitambuliza ku mmanduso n’okwagala okuginyonyogera buli kadde, kitadde bannayuganda mu ntiisa. Buli lwafunye omukisa Kamalabyonna ajogeddeko naye ne leero tusuubira nti ajja kwongera okugittaanya.
Kamalabyonna ajja kuyamba okwongera okutuuza akazito ku b’ebyokwerinda bakimanye nti ebyuma bye bakaalakaala nabyo si byakuzannyisa, wabula bikomya obulamu mu ddakiika mbale.
Ku Mmande nga 12/05/2021 Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga ajja kuba aweza emyaka 8 nga y’ali mu mitambo gya Buganda kyokka ku mulundi agenda kuyita ennaku 2 zokka ate Pulezidenti w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni, alayire ku kisaawe e Kololo akulembere ekisanja ekinaamutuusa ku myaka 40 ng’akulembera Uganda.
Nkakasa nti buli ekinaayogerwa Katikkiro kijja kutuuka gye kiraga era mu bubaka buno ndabamu obubaka eri Gavumenti, abalwanirizi b’eddembe, bannabyanfuna, enkulaakulana n’abavubuka ab’ekyejo abasiiba ku mutimbagano.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.
Omuwandiisi mukugu mu nsonga z’amawulire.