
Bya Miiro Shafik
Bulange – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago ne kkampuni ya AKVO International, guno gutunuuliziddwa okwongera okutuusa amazzi amayonjo ku bantu, okutumbula enkola ey’okufukirira ebirime n’ebyuma ebikozesa amasanyalaze g’enjuba wamu n’okubunyisa amasanyalaze g’enjuba mu Buganda.
Ku lw’Obwakabaka, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa y’atongozza omukago guno oguteereddwako omukono Minisita Mariam Mayanja Nkalubo ku lw’Obwakabaka ne Omuk. Kazimiri Victor ku lwa AKVO International ku mukolo oguyindidde ku Bulange e Mengo.

“Obwakabaka bwa Buganda bukola kyonna ekisoboka okunoonya bannamikago abagatta ku nsonga y’okusitula omutindo gw’embeera z’obulamu bw’abantu ba Kabaka, tukubiriza Obuganda okweyuna bannamikago bano okulaba nti tuganyulwa mu nteekateeka ze balina tusobole okwesitula mu byenfuna ne mu mbeera z’obulamu bwaffe obwa bulijjo” Owek. Nsibirwa.
Owek. Nsibirwa nga y’akiikiridde Katikkiro ku mukolo guno agamba nti omukago guno gutuukira ddala mu biruubirirwa 11 ne 12 mu nteekateeka nnamutayiika y’Obwakabaka, ebirimu okwongezza ku bungi bw’ebintu ebirimibwa mu Buganda, okubigattako omutindo n’okulima mu ngeri ey’omulembe. Bwatyo akubirizza Obuganda okwettanira enkola ey’okufukirira n’okukozesa amasanyalaze g’enjuba.

Owek. Waggwa era asabye Abaami b’Amasaza, n’abalimisa okukunga abantu ba Kabaka ku lw’enteekateeka eno gy’agambye yeetaga ku nteekateeka endala ezatandikiddwako mu kutumbula ebyobulimi mu Buganda okuli; Kalakita ezirima azagibidwa mu masaza, ssemadduuka z’ebyobulimi n’ekigimusa ky’emmwanyi n’amatooke. Akubirizza abantu ba Kabaka obutabongota wabula bafube okuganyulwa mu nteekateeka zino zonna.
Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu agamba nti mu mukago guno abantu ba Buganda bagenda kufuna ebintu okuva mu AKVO ku miwendo egisaliddwako ebitundu 40%, olwo abantu ba Kabaka bafune empeereza ezongera okutaasa obutondebwensi are n’okutumbula ebyobulimi.
Owek. Nkalubo yebazizza Bannamukago bano abeegasse ku Bwakabaka, era ategeezezza nti enkolagana yatandika dda okuvaamu ebibala kubanga bano baawa Obwakabaka ekyuma ekifukirira eky’okugerezesaako, nga kino kiri Mawokota mu kigo ky’Abasisita ekirabirira n’okuyamba abaana abeetavu ekiyitibwa ‘Child Welfare and Adoption Society’.
Ye Mw. Kazimiri Victor, Ssenkulu wa AKVO International agamba nti bavuddeyo okwegatta ku Bwakabaka mu kukuuma obutondebwensi n’okwanguyiza abalimi n’abantu bonna mu mbeera zaabwe ez’obulamu naddala nga bakozesa emasanyalaze g’enjuba.
Omukago guno wakati w’Obwakabaka ne AKVO International gulimu ennyingo y’abantu ba Kabaka okufuna; ebyuma ebifukirira, okufuna amazzi amayonjo aga Nayikondo, n’okufuna ebyuma by’amasanyalaze g’enjuba, byonna ku bbeeyi esaliddwako olw’enkolagana etandikiddwawo.
