Bya Musasi Waffe
Kampala
Okunoonyereza ku mujaasi wa UPDF eyakubye owa Tulafiki essasi kulaze nti ono aliira ku nsiko essaawa eno, akola n’ekitongole ky’amagye ekikkesi ekya Chieftaincy of Military Intelligence(CMI).
Kigambibwa nti Omupoliisi Constable Robert Mukebezi yakubiddwa essasi ng’agezaako okusika emmotoka ya UPDF ekika kya Toyota Prado TX nnamba H4DF 1391 agiteeke ku kasiringi agitwale ku poliisi oluvannyuma lw’okuba nti yabadde ekoze akabenje.
Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire leero ku Mmande, omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ategeezezza nti Prado TX baabadde bagitwala ku poliisi ya Kira Police Station olwo emmotoka endala eya UPDF eyabadde eduumirwa Maj. Alpha Okua ne yeekika kasiringi era ne wabaawo okuwanyisiganya ebigamba kuba abajaasi baabadde tebaagala etuuke ku poliisi.
“Wano omu ku bajaasi yafulumizza essasi n’alumya owa Tulafiki. Ekikolwa kino kyabadde kikyamu, kyabukambwe era ekyalaze obutali bukugu okuva mu bajaasi bano.” Enanga bw’annyonnyodde.
Enanga agamba nti poliisi ekwataganye ne CMI okunoonya Maj. Okua awamu n’abo bonna be yabadde nabo ng’alemesa kasiringi okutwala emmotoka eno basobole okuvunaanibwa ng’amateeka bwe gagamba.
Ono ayongeddeko nti bano bakuvunaanibwa emisango gy’okugezaako okutta omuntu awamu n’okukozesa obubi emmundu.
Bw’abuuziddwa ku kiragiro kya Pulezidenti Museveni kye yawa omwaka oguwedde ng’alagira abapoliisi b’oku nguudo okuweebwa emmundu, Enanga agambye nti abamu ku bano naddala abakulu baaweebwa basitoola ate abalala batambula n’abapoliisi abalina emmundu nga bali ku bikwekweto naye balina enteekateeka okulaba nga abapoliisi ba Tulafiki bonna baweebwa basitoola.
Enjega eno eyabaddewo eggulo ku Ssande yalaze ng’abantu abamu mu bitongole by’ebyokwerinda, bwe bakozesa ebifo byabwe okumenya amateeka.