Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alabudde ku bikolwa eby’obukambwe ebisusse mu kaseera kano ak’okunoonya akalulu, n’ategeeza nti ebikolwa bino bizaala bukambwe era nga bino bwe bibeerawo, tebirina gwe bitaliza.
Okwogera bino, Kamalabyonna abadde atikkula oluwalo lwa bukadde 25 okuva mu ggombolola ezivudde mu Busiro, Buddu, Kyaddondo n’abantu Sekinnoomu, abakiise Embuga leero ku Lwokubiri mu bimuli bya Bulange.
“Ebikolwa eby’obukambe bizaala bukambwe ago g’emazima. Ab’ebyokwerinda ku mulembe gwa; Amin, Obote ne Okello, baakyayibwa nnyo lwa kutulugunya, lwa ttemu, ne gavumenti ezo abantu ne bazikyawa olw’ebyo. Kati ab’ebyokwerinda abatulugunya abantu bakyayisa gavumenti ne we kiteetaagisa.” Owek. Mayiga bw’agambye.
Owek. Mayiga akuutidde abalonzi okulonda abeesimbyewo abanaasobola okwogerera ensonga z’ebitundu byabwe wamu n’okulwanirira ensonga za Buganda, Ssemasonga ettaano, kisobole okubakulaakulanya n’okuzza Buganda ku ntikko.
Ono akuutidde abantu okulwanyisa obwavu kubanga omuntu atalina nnyingiza yonna, taweebwa kitiibwa.
Mukuumaddamula akunze abantu okugula emijoozi gy’emisinde gya ‘Kabaka Birthday Run,’ kisobozese Beene okutwala mu maaso kaweefube w’okutumbula eby’obulamu.
Ono akkaatirizza ng’omwaka guno n’ogujja, essira bwe liteereddwa ku kulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya, ng’abaami be balina okuba abasaale.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, asiimye abakiise Embuga naddala bannabyabufuzi okuli; Mmeeya Lumbuye ne Nassolo Eugenia, Paul Owor awamu n’abalala, olw’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Owek. Kawuki ategeezezza Katikkiro nga bannalwengo bwe beekolamu omulimu ne batandika okusiga ensimbi nga kati bakunukkiriza okuweza obuwumbi bubiri obwa ssente.
Eggombolola ezikiise Embuga kuliko; Ssaabawaali -Kasanje, Ssaabaddu -Katabi (Busiro), Mutuba XIII Kisekka, Musaale -Butenga (Buddu), Ssaabagabo- Lufuka (Kyaddondo), Buganda Youth Council Butambala, Lwengo Development Sacco, Owek. Kato Kajubi (New England), Omumbejja Nassolo Eugenia, ne Paul Owor.
Abakiise Embuga baguze emijoozi, ssatifikeeti era ne baweebwa n’ebipande ebiyamba okulwanyisa ekirwadde kya Ssennyiga Corona.