
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Abakulira amasomero g’Obwakabaka aga siniya banjulidde Minisita w’enkulaakulana y’Abantu n’ebyenjigiriza, Oweek Choltlida Nakate Kikomeko ebyava mu bigezo bya siniya ey’omukaaga 2024 abayizi baabwe bye bakola.
Enteekateeka eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Mmande.
Ebya Lubiri High School ettabi ly’e Mmengo, byanjuddwa omumyuka w’omukulu w’e ssomero Namata Rita, wonna awamu batuuza abayizi 123, abayizi 4 baasobola okufuna obubonero 19 ate abalala bonna baafuna obubonero obubasobozesa okugenda ku matendekero aga waggulu.
Bbo aba e ttabi lye Buloba, ebyabwe byanjuddwa omukulu w’essomero Mw. Ssebina Charles nga bano nabo baayisa bulungi abayizi era baafuna bubonero obubatwala ku matendekero aga waggulu era omuyizi Namutebi Brigdet yafuna obubonero 18.
Bbowa Vocational Senior Secondary School e Luwero okuyita mu mukulu wayo Lubowa James nga nayo yayisa bulungi abayizi n’eyasinga n’obubonero 15 wadde nga yatuuza abayizi batono ddala.

Mu kwogerako eri ba Ssenkulu bano, Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku byenjigiriza, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, abasabye okwongera ku mutindo gwa amasomero gano nga batuukana n’ebyo ebigobererwa mu nsomesa eriwo naddala eyebisomesebwa ebipya.
Abasabye okufuba okulaba nga abaana abawala beyongera mu ssomero ate nga bamaliriza bulungi okusobola okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Minisita Nakate era akubirizza abakulu b’amasomero gano okufuba okulungamya abaana ku masomo ge bakola mu siniya ey’omukaaga nga tebasinziira ku bye basinze okuyita wabula mw’ebyo bye balinamu obusobozi n’obwagazi.
Ku nsonga yemu minisita asabye abasomesa okulaga abazadde obukulu bw’abaana okulambula ebifo ebyo bye basomako naddala amakolero, eby’obulambuzi n’ebirala.
Minisita yebaziza nnyo amasomero g’Obwakabaka olw’obutaba na misango gyekuusa ku nkwata y’e bibuuzo mbi era byonna nebiteebwa wamu n’abasomesa abalafuubana okusomesa abaana nebasobola okuyita.
Omukwanaganya w’ebyenjigiriza mu Bwakabaka Dr. Leticia Nakimuli asabye abasomesa okugoberera abayizi abamalirizza siniya 4 oba beyongeddeyo era n’okuzuula ebisomooza eby’enjawulo bye baba bayitamu olwo babasindike mu minisitule okubayambako okugonjoolwa ku nsonga ezibasumbuwa.
Ye ssenkulu wa Muteesa 1 Royal University Prof. Vincent Kakembo agumizza abayizi abatasobodde kufuna bubonero bubatwala mu kkoosi ze baagala n’abategeeza nti basobola okwegatta ku University ya Ssaabasajja ne basoma ‘Higher Education Certificate’ okumala omwaka gumu olwo ne balyoka bayingira University butereevu.