
Bya Miiro Shafik
Mmengo- Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo akubirizza ab’ekitongole kya Buganda ekikuba ebigezo ki ‘Buganda Examination Council – (BECO)’ okufuba okulaba nti ebibuuzo ebitegekebwa Obwakabaka bwa Buganda bibuna mu masomero gonna mu ggwanga.
Owek. Kaawaase okwogera bino abadde mu lukiiko ttabamiruka olw’omwaka olw’ekitongole kino nga luyindidde mu Bulange e Mengo.
“Mweyambise obukulembeze bwa Gavumenti ez’Ebitundu mu Masaza ga Kabaka agali ebweru wa Buganda nga Busia, Busoga, n’amalala okusobola okubunyisa ebibuuzo bino mu masomero agatali mu Buganda” Prof. Kaawaase
Owek. Kaawaase era akubirizza ab’ekitongole kino okwongera okufulumya ebibuuzo ebiri ku mutindo omulungi ate nga bisoboka eri amasomero gonna. Abasabye n’okunonya emikisa egiri mu nsomesa empya ebibuuzo bisobole okuganyula obulungi abayizi wamu n’amasomero.

Ssentebe wa bboodi ya BECO, Omuk. Lawrence Muwonge ng’asinziira mu lukiiko luno, yebazizza nnyo Obwakabaka olw’okulambikanga obulungi entambuza y’emirimu mu kitongole kino, era ne yebaza nnyo n’abakozi abatambulizibwako emirimu egya buli lunaku okulaba nti ekitongole kyongera okumanyika mu bantu n’okubatuusaako empeereza ennungi.
Ye Ssenkulu w’ekitongole, Omuk. Nviiri Godfrey atutegeezezza nti olukiiko luno n’ebigambo bya Prof. Kaawaase byongedde okubazibula amaaso ku mikisa egy’enjawulo egigenda okwongera okutumbula entambuza y’emirimu mu kitongole. Ono atubuuliddeko ku nteekateeka gye balina okweyambisa amasomero g’Obwakabaka aga nnasale mu buli ssaza ng’ebitebe awatuukira era awakuumirwa ebigezo okusobola okubibunyisa mu masomero ag’enjawulo.
Omuk. Nviiri akoowoodde amasomero mu Buganda n’ebweru waayo okujjumbira ebibuuzo okuva mu BECO kiyambe mu kwongera okuteekateeka abayizi okutuuka ku bigezo eby’akamalirizo nga boogi ekimala.
BECO kye kitongole mu Bwakabaka ekikuba ebigezo eby’okwegezaamu oba ebiteekateek abaana okutuula ebibuuzo eby’akamalirizo mu bibiina okuli pulayimale ey’omusanvu, ne siniya eyokuna n’eyomukaaga.
Olukiiko ttabamiruka luno lwetabiddwamu Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, ba mmemba ba bboodi y’ekitongole kino abaweereza mu Bwakabaka ne bonna abakwatibwako enzirukanya y’emirimu mu kitongole kino