Bya Shafik Miiro
Mengo – Kyaddondo.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Oweek Robert Waggwa Nsibirwa asisinkanye ‘Lukiiko Commission’ n’akakiiko k’Olukiiko akavunanyizibwa ku by’ensimbi okukubaganya ebirowoozo ku bbago ly’entebya ya 2023/2024 n’eryembalirira ya 2024/2025.
Embalirira y’Obwakabaka eyisibwa mu mitendera, era bwemala okwanjulibwa mu lukiiko commission n’eri akakiiko k’olukiiko ak’ebyensimbi, olwo obukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo bugitunulamu nga busisinkanye ba Minisita ab’enjawulo. Buli Minisita mu kiseera ekirambikiddwa asisinkana akakiiko akamutwala okwanjula embalirira ya minisitule ye mu mwaka gw’ebyensimbi oguba guddako, era wano abakiise bategeezebwa n’emirimu minisitule gy’eba enteekateeka okukola mu mwaka ogwo.
Oluvannyuma lw’entuula ez’enjawulo okuva mu bukiiko lw’olukiiko obw’enjawulo, olwo eteekebwateekebwa okuyisibwa eri Obuganda bwonna.
Okusinziira ku minisita wa Kabineeti, Olukiiko, abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro, Noah Kiyimba, obukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo bugenda kutandika okusisinkana ba minisita ku Lwokuna nga 2/05/2024 okutuusa nga 30/05/2025.
Olukiiko lwa Buganda lusuubirwa okutuula ku Mmande nga 05/05/2024, Katikkiro ng’ategeezeza Olukiiko ku mbeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka, ate luddemu okutuuka nga 24/06/2024, nga kw’olwo Nnamutaayiika ey’Obwakabaka 2023/2028 lwejja okutongozebwa ate n’okuyisa Embalirira ya 2024/2025