Bamako
Pulezidenti wa Mali Ibrahim Boubakar Keïta, awambiddwa naggyibwa ku bukulembeze bw’ eggwanga lino era naggalirwa bannamaggye mu ggwanga eryo.
Omwogezi wa gavumenti mu ggwanga lino, bino abikakasizza bwabadde ayogerako eri omukutu gw’Amawulire ogwa BBC.
Abakambwe bano era baggalidde ne Ssaabaminisita w’eggwanga lino. Bano bakedde kulwanagana n’abamu ku bannamaggye ababadde bakkiririza mu bukulembeze bwa Keita.

Okuboggola kw’emmundu ez’amaanyi kwawulidde okwetoloola enkambi ezirilaanye ekibuga Bamako ku Lwokubiri ku makya g’Olwokubiri.
Bbo abavubuka obwedda bali ku mugano era bangi balabiddwako nga banyaga ebintu by’abantu wamu n’okuteekera ebizimbe bya gavumenti omuliro.
Bino webigidde nga Bannamaggye abakulu abasooka okwegeza mu kuwamba Keita bakamala okukwatibwa abajaasi abatalina jjinja lyonna mu ngeri etyoboola ebitimbwa bwabwe.
Kinajjukirwa nti,l Keita abadde yakawangula ekisanja kye eky’okubiri mu mwaka gwa 2018 wabula nga enguzi n’ebyenfuna okudobonkana wamu n’ebyokwerinda ebibadde biserebye byebitabudde bannamaggye nebamunaabira mu maaso.
BBC