• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Dr. Kawanga Ssemogerere obulamu yali yabufuula bwangu – Mikwano gye

Gambuuze by Gambuuze
November 21, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Dr. Kawanga Ssemogerere obulamu yali yabufuula bwangu – Mikwano gye
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Abamu ku bantu ababadde bawangaala n’omugenzi Dr. Paul Kawanga Ssemogerere bamwogeddeko ng’obuntu abadde n’obulamu obwangu era atalina mululu gwa byanfuna wadde yaliko mu bifo ebyamaanyi mu ggwanga.

Omugenzi Ssemogerere eyafudde ku nkomerero ya wiiki ewedde obulamu bwe abadde abutambuza ng’omuntu wa bulijjo era ayagala abalala okubeera obulungi era nga yagoba eby’okwejalabya.

Okusinziira ku banywanyi b’omugenzi, ng’oggyeeko amakaage amatongole  agasangibwa e Lubaga n’ennyumba gyeyasooka okuzimba e Kajjansi, omugenzi abadde talina bya bugagga birala byanaamiriza nga bweguli ensangi zino ku bakulembeze abamu.

Omuwandiisi wa Ssemogerere ow’ekyama, Henry Bazira Ssewanyana agamba nti obulamu bwa mukama we bubadde bumwewuunyisa kuba  abadde talina njawulo namuntu wa bulijjo.

Ssewanyana annyonnyodde nti wadde mukama we abadde n’emmotoka emu ey’ekika kya Nissan Terano Model ya 1980 nga gyebabadde bakozesa awamu n’o mukyala, yagezaako nnyo okumwoleza agule Benz nabigaana nti yali teyeetaagisa.

Ono ategeezezza nti Ssemogerere ye munnabyabufuzi yekka alina likodi y’okuzzaayo ssente z’enfisi mu ggwanika naddala bweyabanga asindikiddwa ku ngendo entongole era kino kiriko obukakafu.

Ye omukuumi wa Dr. Ssemogerere, Amin Musisi ng’ono awangadde naye okumala emyaka 25 agasseeko nti mukama we abadde teyeeyagaliza wabula okufaayo buli omu asobole okubeera obulungi.

Musisi agamba nti mukakafu nti mu mmaali Ssemogerere gyalese temuli kyeyakukusa wadde okulya ensowole era abadde ttasiba busungu wadde okuba n’omutima ogwensalwa.

Musisi ategeezezza nti okusinga ensimbi ze abadde aziteeka mu bibira ebiri e Kalangala ne Nkumba so si goloofa n’ebirala nga abakulembeze b’ensangi zino.

Ate Mukubabyasi Lubwama Lutaakome amaze ebanga ng’alondoola eby’obufuzi agamba nti Ssemogerere gwe mujiji gw’abakulembeze abaasoka era abateketeeke obulungi abatayina mutima gwakwegaggawaza wabula okukolera eggwanga lye.

Ono agamba obwesimbu bwa Ssemogerere bulabikide buli wabade awerereza nga n’abalowoozebwa okuba abalabe be abasembeza.

Mukubabyasi  alabudde abakulembeze abazze n’omuze ogwokweza buli kantu nabasaba okubaako kyebayigira ku Ssemogerere.

Dr. Paul Kawanga Ssemogerere aziiikiddwa e Nattale – Nkumba mu Busiro era nga yafiiridde ku myaka gy’obukulu 90.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.