Bya Ssemakula John
Kampala
Eyavuganyaako ku bwapulezidenti, Dr. Kizza Besigye avumiridde ekya Pulezidenti Yoweri Museveni okulagira ekitongole ky’amagye ekikola ku kuzimba, okweddiza emirimu gyonna egikwatagana n’okuzimba amalwaliro awamu n’amasomero mu ggwanga.
Besigye agamba nti kino kikyamu kuba kkampuni y’amagye emanyiddwa nga National Executive Corporation (NEC) ekolera mu loosi nga tekolangako mulimu n’egufunamu magoba.
“Emirimu egikoleddwa wansi wa kkampuni ya NEC emanyiddwa obutakola magoba nga n’amatabi gaayo gonna gaggalawo.” Dr. Besigye bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti nga July 1, Pulezidenti Museveni yawandiikira Minisitule y’ebyobulamu n’ebyenjigiriza nga aziragira okuwa emirimu gy’okuzimba eri ekitongole kya UPDF ekikola ku kuzimba.
Mu kwanukula, Omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Diana Atwine yawandiikidde abakulira emirimu ku disitulikiti wonna, Ttawuni Kkiraaka ne ba RDC ng’abalagira okuteeka mu nkola ekiragiro kino mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2021/2022.
Atwine era yalagidde abakulu bano okuwaayo emirimu gy’okuzimba gyonna egigenda mu maaso eri kkampuni ya UPDF eya NEC etandike etwale mu maaso emirimu gino.
Ekiragiro kino bannamateeka bakiwanyiza nga bagamba nti kimenya amateeka agafuga ekisaawe ky’okuzimba awamu n’endagaano z’omukago gwa East Africa.
Wabula Pulezidenti Museveni yawolerezza ekiragiro kye ng’agamba nti kkampuni ez’obwannannyini emirimu gibadde gigitambuza kasoobo ate nga n’abakozi ba gavumenti babadde bazikozesa okulya enguzi olwo emirimu ne gidibagibwa.
Okusinziira ku Dr. Besigye, Pulezidenti Museveni yataddewo muwaatwa mulala w’asobolera okubulankanyiza ssente z’omuwi w’omusolo kuba olw’ensonga nti ttenda zino teziriiko kuvuganya, aba UPDF bagenda kusaba ssente zonna ze baagala.
Besigye agamba nti alipoota y’Omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti yalaga nti wadde gavumenti yateekamu obuwumbi 40 mu kkampuni ya NEC n’amatabi gaayo, naye terina magoba gonna ge yali ekoze.
Kkampuni eno eya NEC erina amatabi ag’enjawulo okuli; NEC- Farm Katonga Ltd ne NEC Tractor Hire Scheme. Gye buvuddeko olukiiko oluddukanya kkampuni eno lwakyuka ne batandika okuddaabiriza oluguudo lw’eggaaliyoomukka olwa Tororo – Pakwach, okukola omukka ogussibwa awamu n’okutereeza kasasiro.
Mu bbaluwa ya Dr. Atwine abakulira entambuza y’emirimu bajja kusigaza obuyinza okulondoola emirimu bwe gitambula n’okuwa amagezi okusobola okukola omulimu omulungi.