
Bya Ssemakula John
Ekibiina ki Democratic Party (DP) kirangiridde nga bwevudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Omoro mu Palamenti mu kalulu akagenda okubaawo omwezi ogujja.
Kino kiddiridde abadde akwatidde ekibiina kino bbendera, Godwin Okello, okulangirira ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga bwavudde mu kalulu kano.
Okello, yalondebwa omwezi oguwedde nga agenda okwesimbawo ku kkaadi ya DP, oluvannyuma lw’okufa kwa Jacob Oulanyah mu mwezi gwa March, 2022.
Bweyabadde ava mu lwokaano, Okello yagambye nti kino yakikoze okusigaza enkolagana n’abantu b’ekitundu kya Aruu gyeyali yeesimbye mu kalulu ka 2021 ng’ ayagala okukiikirira abantu b’ekitundu kino mu Palamenti nga eby’okuvuganya mu Omoro bibabadde bigenda babuzaabuza.
“ Bwenakoze okwebuuza ku bantu ba Omoro n’ abakulembeze mu kibiina, nsazeewo nve mu kalulu ka Omoro, kuba abantu ba Aruu baninamu essuubi lingi era bansabye nsigale nga nvuganya mu kitundu kya Aruu era nange nenzikiriza,” Okello bwe yalambuludde.
Oluvannyuma lw’ amawulire gano, DP yategeezezza nti tegenda kusimbawo muntu yenna oba okuwagira omuntu omulala ku ludda oluvuganya mu kalulu kano.
Kati olwokaano lw’okusikira Oulanyah lusigaddemu mutabani w’omugenzi era munnakibiina ki NRM, Andrew Ojok n’abalala ku ludda oluvuganya omuli Denis Dick Owani owa FDC, Tolit Simon Akena owa NUP ne Kiiza Oscar owa ANT.
Okusinziira ku kakiiko k’ebyokulonda, okusunsulamu abanavuganya ku kifo kino kugenda kubaawo nga May 12 ne 13 ate kampeyini zitandike nga 16 – 24, 2022 ate okulonda kubeewo nga May 26.









