Bya Ssemakula John
Kampala
Ddereeva wa Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Bunyoro, Jenifer Namuyangu alagiddwa okweyanjula ku poliisi akole sitatimenti ku bigambibwa nti aliko kkeesi y’omuyizi wa Budo Secondary School gyeyalinnye nayonoona.
Steven Aipikor yalagiddwa omuteesiteesi omukulu mu woofiisi ya Ssaabaminisita, Keith Muhakanizi okweyanjula eri akulira poliisi y’ebidduka enkya ku Lwokubiri asobole okwenyonyolako.
Kigambibwa nti Aipikor yakoonye kkeesi y’omwana nagyonoona eggulo ku Ssande abaana byeyabadde atutteyo omu ku baana ababadde balina okudda ku ssomero. Abeerabiddeko bagamba nti ono bwebamunenyeza yaggyeeyo omutwalo gumu nagubawa oluvannyuma neyeyongerayo.
Kino kyatabudde abantu naddala ku mutimbagano nebasaba woofiisi ya Ssaabaminisita okuyingira mu nsonga zino.
Ku Mmande Muhakanizi yategeezezza nti ekikolwa kya Aipikor kyabadde kibi nnyo nga kivumaganya ekitiibwa kya woofiisi ya Ssaabaminisita.
Aipikor era alagidde okuwandiika mu butongole nga yenyonyolako lwaki tagobwa ku mulimu kuba yeeyisizza nga ekitagasa.