Bya Ssemakula John
Entebbe
Kkooti enkulu e Ntebe esingisizza ddereeva Mawa Muzamiru omusango gw’okubbisa emmundu n’okutta Francis Ekalungar eyali omubalirizi w’ebitabo ku ddwaliro lya Case Clinic mu Kampala.

Francis Ekalungar yali yabula ng’ennaku z’omwezi 02/01/2018 naye oluvannyuma omulambo gwe ne guzuulibwa nga gwokeddwa e Kajjansi era abantu abasoba mu 20 ne bakwatibwa poliisi nga kigambibwa nti baaliko kye bamanyi.
Okusinziira ku kkooti oluvannyuma lwa Ssabbiiti 2, Muzamiru nga ye ddereeva w’omutandise w’eddwaliro lino, Dr. Ssebale Kato y’omu ku baakwatibwa bannyonnyole.
Eggulo ku Mmande, Kkooti enkulu eyatudde mu kibuga Ntebe ku kkooti ento, yasingizza Muzamiru emisango gyombi oluvannyuma lw’okugikkiriza.
Wadde ono teyayagadde kulaga ngeri gye yeenyigiramu mu lukwe luno yakkiriza nti yalimu mu lukwe lw’okumubbako ssente wamu n’okumutta.
Omulamuzi wa kkooti enkulu, Yasin Nyanzi, wano we yasinzidde okumusingisa omusango oluvannyuma lw’okugukkiriza wabula n’ayongerayo olunaku lw’agenda okumuwerako ekibonerezo.
Wabula abalala abaakwatibwa okuli Huzairu Kiwalabye ng’ono muganda w’Omuyima wa boodabooda 2010, Abdullah Kitatta, Deogratius Yiga n’Omusuubuzi Resty Nalunga, omusango baagwegaanye.
Omuwaabi wa gavumenti Anne Ntimba, yategeezezza kkooti nti bano bonsatule babba ssente za Ekalungar, essimu ze wamu n’emmotoka ye ekika kya Toyota Premio nnamba UAW899U.
Mu kaseera Ekalungar we yabulira yali alina ssente z’eddwaliro lya Case Clinic Obukadde 15 ze yali atwala mu bbanka ya DFCU wabula oluvannyuma omulambo gwe gwazuulibwa e Kajjansi nga gwonna tegukyategeerekeka.
Kigambibwa nti abaamuwamba baaweebwa emitwalo 20 buli omu okusobola okuluka olukwe luno.