Abakulira akakiiko akalwanyisa ssennyiga Corona ku bizinga bye Kalangala balagidde abatuuze ku mwalo gwe Nkose abawera olukumi okugenda mu kalantiini oluvanyuma lw’okuzuulayo omuntu ow’okubiri nga akwatiddwa ekirwadde kino.
Eyazuuliddwamu ekirwadde kino mukyala, nga Sampolo zaali zamugyibwako mu mwezi gwa August nga 28 ku ddwaliro lya Buvuma Health Centre IV. Wabula ono oluvanyuma yagenda ku mwalo gwe Nkose, mu Ggombolola ye Mazinga mu disitulikiti ye Kalangala era gyeyasangiddwa.
Oluvanyuma lw’okumunoonya nebamusanga ku kizinga kino, abakakiiko akalwanyisa ekirwadde kino balagidde abantu bonna ku mwalo guno okwetwala mu Kalantiini nga bwebalinda okukeberwa abakugu.
Akulira eby’obulamu mu Kalangala Godfrey Hadubi, yategeezezza nga bwebasazeewo okukugira abantu okufuluma n’okujja ku mwalo guno kiyambeko obutasaasaanya kirwadde kino.
Ono yagasseeko nti, basazeewo ekizinga kino kyebaba bafuula kalantiini era webagenda okukuumira abantu bano bonna kubanga nga disitulikiti tebalina busobozi kuteekawo kifo kya Kalantiini eky’enjawulo kubanga ne kyebalina bakiggala olw’obuzibu bw’ensimbi.
Disitulikiti ye Kalangala yali yateeka ekifo kya Kalantiini ku ssomero lya Bishop Dunstan Nsubuga Memorial wabula nga kati kyaggalwa olw’obuzibu bw’ensimbi.
“Nga akakiiko tetulina busobozi kuggyayo bantu bano bonna kubanga n’ekifo wetwandibatutte kyaggalwa olw’obutaba na ssente, kati tusazzeewo tubasigaze ku kizinga kino kubanga kyetusobola,” Hadubi bweyanyonyodde.
Hadubi yalambuludde nti mu kiseera bakwataganye n’abakulembeze ku byalo wamu n’akakiiko ka COVID-19 mu disitulikiti eno okulaba nga abantu bagondera amateeka n’ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kino.
Ate yye omulwadde yaggyiddwayo natwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka okusobola okujjanjabibwa.
Kinajjukirwa nti omuntu eyasooka okusangibwa n’ekirwadde mu disitulikiti ye Kalangala yazuulwa mu mwezi gwa April era nga ono yali muvubuka eyali yakadda okuva mu Buwarabu.
Bya URN