Musasi waffe
Munnayuganda Joshua Cheptegei amenye likoda bwawangudde omudaali gwa zzaabu mu misinde gy’akafubutuko egibadde e Monaco mu Bufaransa.
Ono emisinde egya kilomita ettaano agiddukidde eddakiika 12:51 nga amanyeewo likoda ebadde yateekebwawo munnakenya Rhonex Kipruto eyali yaziddukira eddakiika 13:18 omwezi oguwedde mu Valencia mu Spain.
Omwaka oguwedde Cheptegie on era yawangulira Uganda omudaali gwa zaabu oluvanyuma lw’okuwangula emisinde egya mita 10,000.
Muk’omukelembeze w’eggwanga era minisita avunanyizibwa ku by’emizannyo Janet Museveni ayozaayozezza nnyo Cheptegei olw’okutuuta ku buwanguzi buno.