Bya Gerald Mulindwa
Bulange
Akulira ekitongole ekirwanyisa Siriimu mu nsi yonna era munnayuganda Winnie Byanyima, y’agenda okubeera omugenyi omukulu nga Beene asimbula emisinde gy’okujjukira amazaalibwa ge ag’omwaka 2020.
Ekyama kino kibikuddwa Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, bw’abadde ayanjulira bannamawulire akakiiko akategesi ak’emisinde gino, leero ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.
Owek. Kaawaase agambye nti, “Tuli mu kulwanyisa Mukenenya era ekibiina ky’ensi yonna ekya UNAIDS akikulira oba ssenkulu waakyo era Munnayuganda Winnie Byanyima, y’agenda okuba omugenyi omukulu.”
Ono asabye abantu okujjumbira emisinde gino bwe banaabeera basobole, okwaniriza Ssenkulu wa UNAIDS, Byanyima mu kitiibwa ekisaanidde.
Kaawaase annyonnyodde nti emisinde gy’omulundi guno, Omutanda yasiimye giddukirwe wansi w’omulamwa ‘Abaami tubeere abasaale mu kulwanyisa Mukenenya tutaase abaana ab’obuwala’
Olukiiko olulangiriddwa lukulira Owek. Kaawaase nga ye ssentebe waalwo, Owek. Henry Ssekabembe ye mumyuka ate Minisita Noah Kiyimba mukiise.
Abalala kuliko; Omuk. Josephine Nankindu, Omuk. Zzaake, Omuk. Kawaddwa awamu n’abalala.
Prof. Kaawaase agambye nti Beene yasalawo okusoosowaza ebyobulamu mu Uganda ne Buganda, y’ensonga lwaki Obwakabaka bwafunye engule ya ‘Heroes in Health Award 2020.’ Olw’okusukkuluma mu kulwanirira ebyobulamu.
Agasseeko nti ku lunaku lwennyini abanaayingira mu Lubiri tebajja kusukka bantu 200 era nga bano bagenda kuweebwa ebbaluwa ezibayita okutandika n’olunaku lwa Mmande ya wiiki ejja.
Ono asabye abantu okugula akajoozi ga 2020 basobole okwetaba mu misinde gino egigenda okuddukibwa mu ngeri ya Ssaayansi.
Kinajjukirwa nti emisinde gino gyali gwakubaawo ku lunaku 13/ 04/ 2020 olw’amazaalibwa, naye ne kitasoboka olw’embeera y’ekirwadde kya Ssennyiga Corona era ne kisalibwawo emisinde gino okuddukibwa mu ngeri ya Ssaayansi.