Bya Gerald Mulindwa
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki akuutidde abantu okunywerera ku biragiro bya Kabaka byawa abantu be okugenda mu maaso era bawangule abalabe ba Buganda abagirumba okugisuula.
Bino bibadde mu bubaka bwa Oweek. Joseph Kawuki bwatisse omwami we Ssaza Canada, Muky. Esther Namakula Muyinda, ku mukolo gw’okusabira Obuganda mu Ssaza lye Canada ogwabaddewo okwosa jjo.
Minisita Kawuki abategeezezza ku balabe ba Buganda nti baaliwo, babaddewo era bakyaliwo, awonno n’abasaba okunywerera kwebyo Kabaka byabagamba entakera, ssaako Katikkiro n’Abaami bye babategeeza mu biseera eby’enjawulo, olwo lwebanaasobola okuwangula abalabe ba Buganda.
Owek. Kawuki abasibiridde entanda ey’okuba abamalirivu nga batambulira wamu n’enteekateeka eziva mu bwakabaka era nokuziwagira nga tebeerabidde okussa ekimu, obunyiikivu, obwerufu, n’okwagala eddiini zaabwe olwo Buganda eyongere okuyitimuka.
Ono abajjukizza ku buvunaanyizibwa bwabwe okuli; Okugula satifikeeti ey’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka mu nkola ya luwalo lwaffe, Okujjumbiranga emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka buli mwaka, Okusonda ensimbi ez’okusima oluzzi waakiri lumu mu bwakabaka n’ Okukola enteekateeka ey’okusigiranga awamu ensimbi ng’Abaana ba Nambi eyo gyebabeera.
Abeebazizza olw’enteekateeka y’okukuza ameefuga ga Buganda agafuulibwa ebijaguzo bya bulungiwansi.
Omukolo gwetabiddwako; Omuwandiisi wa Kabaka ow’ekyama, DD Mukiibi, atwala pulotoko mu bwakabaka Omuk. David Ntege, Abamyuka ba omubaka we Canada, atwala e kitongole kya Kabaka Foundation e Canada Muky. Noeline Nakafeero Ssebulime, n’abalala.