
Bya Africa Eye – BBC
Okunoonyereza okukoleddwa omukutu gwa BBC ku butambi 400 bulaga abajaasi n’abapoliisi abaali batambulira ku kabangali nnamba UP 5564 eya 999 nga bakuba abantu amasasi ku Kampala Road. Obujulizi obuzuuliddwa bulaga nti abamu ku bajaasi abagambibwa okukuba abantu amasasi mu kwekalakaasa kwa Novemba baali batambulira mu kabangali za poliisi wamu n’emmotoka endala eza gavumenti era nga bakutte emmundu z’ekika kya AK-47.
Okunoonyereza BBC Africa Eye kwe bakoze okutumiddwa “Three Killings in Kampala,” kulaga abamu ku basajja abakuba abantu amasasi nga bambadde ebyambalo bya poliisi n’amagye ekikakasa nti baali ba byakwerinda.
Okusinziira ku butambi obuwerako aba BBC bwe beekenneenyezza, abasajja bano baali batudde ku ludda lwa kkono olw’emmotoka ya poliisi eyaliko ‘Police 17’ nga bavuga badda ku Jinja Road nga bava ku Bombo Road.
Obutambi buno obwakwatibwa abantu ab’enjawulo, bulaga kabangali ya poliisi ng’evugibwa ndiima naye ng’emabega kutudde abajaasi abaali bakuba amasasi mu bantu awataali kutaliza. Omu ku bantu abadduka okutaasa obulamu ye Kamuyat Nangobi, 28, eyali atwalira Jjajja we Muslim Musimami emmere ku E Towers.
Ono eyali ayambadde bulawuzi enzirugavu ne ssikaati emyufu. Mu katambi ono ayalabika ng’agudde wansi n’essowaani z’emmere oluvannyuma lw’okukubwa essasi mu mutwe.
Kamuyat ye yasooka okuttibwa mu kwekalakaasa kuno okwa Novemba era oluvannyuma gavumenti yavaayo n’eraga ng’abantu 54 bwe baali bafiiridde mu kwekalakaasa kuno okwamala ennaku 2, olw’ ebifaananyi bya Kamuyat okusaasaanira omutimbagano.
Okwekalakaasa kuno kwava ku kukwatibwa kwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP) era eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti, Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine, bwe yali e Luuka mu Busoga ng’anoonya akalulu.
Mu kunoonyereza kuno aba BBC Africa Eye batunuulidde obutambi bwa video 400 obwakwatibwa ku masimu era ne babuuza n’abantu abeerabirako abasoba mu 30 era abamu ku bano baakakasa nti abantu abamu abattibwa ku olwo baali ku byabwe. Alipoota gavumenti gye yawadde agamu ku mawanga agagaba obuyambi eraga nti abantu 13 bokka ku 54 abattibwa ku olwo be baakuba mu butanwa.
Era gavumenti yategeezezza aba BBC Africa Eye ng’okunoonyereza ku byaliwo mu kwekalakaasa kuno bwe kwawedde era ne alipoota n’eweebwayo mu Palamenti. Kinajjukirwa nti ebibiina ebyenjawulo ebitakabanira obwenkanya omwali ne Uganda Law Society, byalaga ng’ebyokutta abantu mu kwekalakaasa kwa Novemba bwe lyali ettemu era ne basaba gavumenti okuvunaana buli eyali emabega w’ettemu lino.
N’okutuusa kati gavumenti tevangayo kutegeeza nsi b’ani abatta abantu ku olwo, era tekimanyise oba bali kikola era poliisi n’amagye bagenda maaso n’okwerumiriza ku ani avunaanyizibwa ku byaliwo kwu olwo wamu n’okutegeeza nga okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso wadde akulira ekitongole kya poliisi ekinoonyereza Grace Akullo yategeeza ng’alipoota bwe yaggwa edda mu Decemba wa 2020.
Okunoonyereza okwakoleddwa BBC Eye biraga nti omuntu eyatta Kamuyat yali omu ku baali emabega wa kabangali ya poliisi ku ludda lwa kkono era nga bano baliko n’abantu abalala musanvu be baakuba amasasi ku Kampala Road okuva ku E- Towers okutuuka ku CPS.
Obujulizi obuliwo bulaga n’abantu abalala babiri nga bakubwa amasasi ku wooteeri ya Little Bee Restaurant, naye ne bayambibwa aba Uganda Red Cross okuteekebwa mu ambyulensi ne baddusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Omulala eyafiirwa obulamu ye John Amera, 31, ng’alina abaana babiri nga yali atunda dduuka okuliraana essundiro lya Shell Capital era ono yakubwa essasi mu kifuba eryamuggya mu budde ng’agezaako okwekweka mu dduuka.
Omuvubuka Abbas Kalulu ow’emyaka 23, ng’atunda mu dduuka ku Kampala Road naye yakubwa essasi mu kisambi kya kkono era kigambibwa nti yafiira mu ddwaliro e Mulago oluvannyuma lw’okubeerayo ennamba 4 ng’ajjanjabwa.
Omwami John Kittobbe naye eyali azze mu kibuga okuvungisa ssente naye yakubwa essasi mu nsigo bwe yali mu mulyango gw’ekizimbe kya Mabirizi Complex. Ku Mabirizi Complex era waliwo omusajja omulala eyakubwa essasi mu nkizi ng’agezaako okuyingira ekizimbe kino ng’ayatira mu mulyango gw’obuvanjuba wakati nga Kabangali ya poliisi eyambuka ku CPS.
Obutambi BBC Africa Eye bw’erina tebulaga kakwate ku bantu abakubwa amasasi n’okwekalakaasa okwali kugenda mu maaso era nga kikakasa nti abasinga ku bano battibwa bwereere.
Waliwo abantu abalala abaakubwa amasasi mu ngeri yeemu mu buwanvu bwa kiromita nga 7 e Bbanda ku luguudo lw’e Jinja. Okusinziira ku butambi BBC bw’erina, abaakola kino baali batambulira mu mmotoka za gavumenti omwali ne Prado. Wano Shakira Nyemera, eyali Nnakawere owa wiiki ebiri zokka wamu ne mulirwana we, Shamim Nabirye eyali olubuto lw’abaana basatu baakubibwa amasasi.
Nyemera yali ava ku dduuka ne yeegatta ku bantu abaali emabbali w’ekkubo nga balaba ebigenda mu maaso, emmotoka za gavumenti zaali ziyitawo ne zibakubamu amasasi ne gamukwata ne Nabirye eyali amuliraanye.
Mukyala Nyemera agamba nti wadde ebiwundu ku nguli bikaze naye akyawulira obulumi munda.
Omulala eyattibwa yali ku Cornerstone Plaza, okuliraana ppaaka ya Usafi . Wano Omuyizi Arnold Ssegawa, ow’emyaka 15- eyali asomera ku Lubiri High School (Buloba Campus), yakubwa essasi mu kamwa era okusinziira ku baaliwo, abajaasi abaakola kino bali bakuba amasasi mu bantu awatali kusosola.
Abajaasi bano baali batambulira ku mmotoka kika kya Pick-up ey’amagye era nga bafubutuka ku ludda lw’e Mmengo.
Nnyina w’omwana ono Hajjarah Nakitto ye muntu yekka ku b’enganda z’abo abaafiirwa abaabwe eyasalawo okugenda mu kkooti afune obwenkanya.
“Baali emmundu baazisonga mu bantu butereevu nga bwe bakuba amasasi, oluvannyuma emmotoka yeeyongerayo. Batta abantu abatalina musango ng’omwana wange kati ndi wano mbonaabona.” Nakitto bwe yategeezezza mu katambi.
Ekirindiriddwa kwe kulaba oba gavumenti enaatuukiriza ekisuuubizo Pulezidenti Museveni kye yakola bwe yategeeza nga bwe bajja okuliriyirira abaafiirwa abaabwe mu butanwa wamu n’abaayonoonebwa ebyabwe singa babeera n’obujulizi.









