
Bya Nabaggala Shadiah
Kampala – Kyaddondo
Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda zikomekkerezeddwa ku Hotel Africana wakati mu bugombe n’enduulu eby’abawagizi okuva mu masaza ga Buganda gonna.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda akubirizza abazadde okuwagira abaana baabwe okuzuula ebitone n’obusobozi bwabwe obw’enjawulo, era babasigemu obuntubulamu, empisa n’okumanya obuwangwa n’ennono zaabwe nga bakyali. Agamba nti ekitone ky’omwana bwe kizuulibwa nga muto n’awagirwa okukikuza obulungi olwo akifunamu era ne kimugasa.
Bino Maama Nnaabagereka abitadde mu bubaka obusomeddwa Minisita Choltilda Nakate Kikomeko ku mukolo gw’okutuuza Nnalulungi wa Buganda ow’ebyobulambuzi. Nnaabagereka agamba nti abaana beataaga okuwagirwa bulijjo okusobola mu bintu eby’enjawulo bye bakola okusobola okufuuka aboomugaso eri Ensi.
Nnaabagereka asiimye nnyo empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda, z’agambye nti ziva abaana omukisa okwezuula n’okuyiga ku buwangwa n’ennono zaabwe ate n’okutumbula ebyobulambuzi by’Eggwanga.

Nambaziira Joan eyeddira Nnyonyi Nnyange, ava Buluuli, y’alangiriddwa okubeera Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2025, asinze banne 36 okuva mu Masaza ag’enjawulo nga bwe babadde bavuganya. Ono awereddwa emmotoka kapyata emuyambeko okutuukiriza obuvunanyizibwa obumwolekedde.
Nabukenya Mercy wa Ngabi ava Kabula y’akutte ekyokubiri ate Navvubya Vanisha Leticia ava e Busujju n’akwata ekyokusatu.
Minisita w’Ebyobulambuzi mu Buganda Owek. Anthony Wamala akulisizza abawala abawangudde kyokka n’ayozaayoza ne bonna abeetabye mu kuvuganya n’agamba nti bagenda kubateerawo emikisa egy’enjawulo okwongera okutumbula ebitone byabwe. Asuubizza nti buli mwaka empaka zino zigenda kwongerwangamu amaanyi okusobola okwagazisa abawala bangi okuzeetabamu kubanga zigatta kinene nnyo mu kubabangula okumanya ensibuko yaabwe.
Omutaka Muteesaasira akiikiridde Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama agamba nti abantu basaana okumanya obuwangwa baabwe omuli ennyambala, emmere, empisa, olulimi, obutondebwensi n’ebirala.Ono agamba nti empaka zino zifudde nnyo ku baana aboobuwala, era asabye wabeewo enteekateeka n’okusitula omwana omulenzi, olwo abaana ab’ekikula kyonna babeere nga bakula bateeketeeke. Akubirizza buli muntu okufaayo okuyiga obuwangwa bwe.

Ssentebe wa bboodi y’ebyobulambuzi Omuk. Benon Ntambi yebazizza abazadde abawaddeyo abaana baabwe okwetaba mu mpaka, akikaatiriza nti olw’okuba omusingi gw’Eggwanga guli mu bavubuka, kirungi okubabangula mu bintu eby’enjawulo. Bwatyo n’agamba nti empaka zino zitegekebwa okusobola okutumbula ebitone mu bavubuka, n’okubazimba ng’abantu kinnoomu.
Omuk. Nsubuga Najib Ssenkulu w’ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda yebazizza abaana abawala abaavaayo okuvuganya mu mpaka, era agambye nti bayise bingi ebijja okubayamba okuwangula Ensi. Ono agamba nti bagenda kukola enteekateeka okulaba nti basigala balondoola abaana abawala bano okulaba nti bongera okubangulwa basigale ku mulamwa naddala mu kutumbula ebyobulambuzi mu Buganda.
Yebazizza abazadde abawagidde abaana okwetaba mu mpaka zino, abavujjirizi n’olukiiko oluteesiteesi olw’empaka olwa byonna ebikoleddwa okulaba nti empaka z’omwaka guno zitambula bulungi.
Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda omwaka guno zitambulidde ku mulamwa; “Nze Buwangwa Bwange” era nga zivuganyiziddwamu amasaza agawerera ddala 16 nga muno mwavaamu abaana abawala abaasumuka okuva mu masaza 52.
Abawanguzi baweereddwa ebirabo ebyenjawulo nga n’enkizo ey’amaanyi abaasinze abana (4) bagenda kuweebwa olugendo lwa bwerere okulambula ebifo ebyenjawulo mu Bungereza naddala mu kibuga London okwongera okumanya ku buwangwa n’ebyobulambuzi eby’amawanga amalala.

Omukolo guno gwetabiddwako Baminisita mu Gavumenti ya Ssaabasajja, Abataka Abakulu Ab’Obusolya, Bassenkulu b’ebitongole, Abaami b’Amasaza, n’abantu ba Kabaka abalala bangi ddala