Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Minisita w’Obuwangwa, Ennono n’Obulambuzi n’Embiri, Owek. David Kyewalabye Male, eggulo yalambudde ekifo awagenda okubeera omwoleso gwa Buganda Ggaggadde, n’akakasa nti enteekateeka zonna ziwedde.
Owek. Kyewalabye yasinzidde wano nakunga abantu bonna abalina ebintu eby’enjawulo byebakola okukozesa omukisa guno era nakuutira abantu okujja bafune omukisa okuyiga ebyafaayo bya Buganda ne Uganda.
Mu ngeri yeemu , abategesi n’enteekateeka eno nga bakulembeddwa aba LUBA Events bakakasa nti buli kimu kitambula bulungi.
Akulira LUBA Events, Mw. Moses Lubuulwa, agambye nti buli kimu kiwedde era n’akoowoola abantu okujja okuva nga 19 August, 2022, balabe eky’enjawulo naddala ku by’obulimi, eby’ensomesa, n’ebyokulya ebitegekeddwa mu mwoleso guno.
Ye akulira bakitunzi mu kitongole kino Buganda Heritage And Tourism Board, Carol Nnaalinya agambye nti enteekateeka y’omulundi guno ya muggundu; ekisaawe kiyooyooteddwa bulungi; amakubo gaakoleddwako bulungi; eby’okwerinda binywezeddwa; n’eby’okuyiga bingi ddala omuli; eby’Obuwangwa n’Ennono, byonna bimaze okuteekebwateekebwa.
Omwoleso gutandika nkya nga 19 okutuuka 28 omwezi guno