Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okwongera okutumbula eby’obulimi naddala eby’obulimi mu Buganda kiyambe okutumbula eby’enfuna n’embeera z’abantu awamu n’okuzza Obwakabaka ku ntikko.
Bino byogeddwa Minisita avunaanyizibwa ku by’obulimi mu Buganda, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo bw’abadde akwasa Pikipiki ekitongole kya BUCADEF wano ku mbuga enkulu Bulange Mengo, nawera okuyamba abalimi ku bwetaavu bw’okwettanira ennima ennungi egattako omutindo.
“Ekitongole kyali kitandise okunafuwa naye kyazibwamu amaanyi nga twafuna abakozi n’abakugu ab’enjawulo netubawa ebikozesebwa. Ekitongole kino kirina emmotoka nga kaakati Obwakabaka bugasseeko Pikipiki. Kaakati twagala okulaba nti tewali wemutatuuka, tujja kwongera okusinziira ku bibala byetunaaba tufunamu,” Minisita Nkalubo bw’agambye.
Okusinziira ku Minisita Nkalubo ekimu ku bisinga okukosa abalimi mu kadde kano y’entambula esobola okubatuusa mu misoso gy’ebyalo naddala eyo ewatasobola kutuuka mmotoka era kyekyabawaliriza okuwaayo Pikipiki okugigatta ku mmotoka eyakamala okuweebwayo.
Owek. Nkalubo agumizza abantu ba Kabaka nti ebyetaago byabwe byonna ebikwatagana ku kulima n’okulunda kati bisobola okukolwako bulungi ekitongole kya BUCADEF.
Akiikiridde Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF Saul Kaye yeebazizza olw’entambula eno egenda okubayamaba okutuuka ku bantu ba Beene wansi mu byalo.
Ssenkulu w’ekitongole kya BUCADEF Omuk. Mugenyi Musenze Robert agambye nti ekitongole kino kati kirina wofiisi mu buli ssaza kyokka naalaga obwetaavu bw’abantu okwettanira obwegassi okusobola okutambulira awamu.