
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bweyamye okwongera amaanyi mu byobulimi bw’emmwaanyi kisobozesa abantu ba Kabaka okufuna emmere ey’okulya era bafiseewo gyebasobola okutunda okulwanyisa obwavu.
Obubaka buno buweereddwa Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’abadde atongoza ebikozesebwa abalimisa b’Obwakabaka mu kusomesa okulima emmwaanyi ebiweereddwa bannamikago aba Cafe Africa ku Lwokubiri.
Owek. Nsibirwa era awadde abantu amagezi okwettanira n’okwetaba butereevu mu bulimi okufuna emmere ate nensimbi okweyimizaawo basobole okwegobako obwavu era bakulaakulane.
Nsibirwa era asabye abalimimisa okukozesa obumanyirivu bwabwe okubangula abantu ba Ssaabasajja ku bulimi naddala obw’omulembe basobole okukuuma omutindo gw’ ebyo byebalima naddala emmwaanyi okusobola okuzifunamu.

Yeebazizza bannamukago aba Café Africa, abaawaddeyo ebipande bino, n’abasaba okubizza mu nnimi ennansi, so ng’abalimisa abakuutidde okutendeka obulungi abalimi, balinnyise amakungula g’emmwanyi eziri ku mutindo.
Ye Minisita w’Obulimi, Obwegassi , Obusuubuzi ,n’Obuvubi Owek.Hajji.Amisi Kakomo agamba nti ebyobulimi mpagi luwaga mu nkulaakulana ya Buganda ne Ggwanga okutwakizaawamu nga yensonga lwaki Obwakabaka bubutaddeko essira.
Ssenkulu wa BUCADEF, Omuk. Robert Mugenyi Musenze, ategezeezza nti wakyaliwo obwetaavu okwongera okubangula abantu mu Buganda ku nnima ey’omulembe ezza amagoba
Omukungu w’ekitongole ki Cafe Africa, Rose Caroline Nabukwasi annyonyodde nti bakwataganye n’obwakabaka okwongera amaanyi mu kirimr ky’ emmwaanyi
Omukolo guno gutandise namusomo era abalimisa babanguddwa ku bintu ebyenjawulo ebisobola okubayamba okutuusa ku balimi empeereza ey’omulembe.