Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda butandise enteekateeka y’okwongera okubangula abantu ku nnima n’ennunda ey’omulembe nga ekozesa abalimisa ababanguddwa obulungi.
Kino kiddiridde abalimisa bano 12 okumalako okutendekebwa bwebabaddemu okw’ emyezi 6 okubongera ku bukugu mu nteekateeka ewagirwa aba Private Sector Foundation.
Bw’abadde akakasa abalimisa bano, omumyuka w’Omuwandiisi owenkalakalira mu woofiisi ya Katikkiro Omuk. Peter Zaake bano abasibiridde entanda nabasaba okutuukiriza obuvunannyizibwa obubaweereddwa era beeyambisa tekinologiya okwongera ku mutindo gw’emirimu gyabwe.
Omuk. Zaake abasabye okunyweza ennono y’obwerufu awamu n’obunyikivu basobole okubeera eky’okulabirako yonna gyebanaakolera.
Ye Ssenkulu wa BUCADEF Omuk. Mugenyi Robert Musenze annyonnyodde nti enteekateeka eno egendereddwamu okumalawo ebbula lyemirimu mu bavubuka nga babayambako okwekulaakulanya.
Omukwanaganya w’Obwegassi Herbert Mulinddwa Wamala asabye abaweereza bano okuba eky’okulabirako ekirungi eri abalala ate nokufuba okunnyikiza enteekateeka eno mu bavubuka.
Enteekateeka eno yakutandikira mu masaza okuli Buddu , Kyadondo, Busujju , Mawokota olwo eryoke ebune amasaza ga Ssaabasajja gona nga abalimisa bano bakusooka kubangulibwa okwongera ku bukugu bwabwe okumala emyezi mukaaga