
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka buweze okukolagana nokutambula nabuli yenna akkiririza nokuwagira enfuga eya Federo Buganda gyeyaayanira okusobola okuleetawo enkulaakulana n’obwenkanya mu byenfuna n’obukulembeze.
Kino kibikuddwa Minisita w’ensonga z’Olukiiko era minisita mu woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba mu Bulange e Mmengo bw’abadde asisinkanye bannabyabufuzi ab’enjawulo abakkiririza mu Federo nga bakuliddwamu eyavuganyaako ku bwapulezidenti mu 2016, Omw. Elton John’s Mabiriizi.
Owek. Kiyimba agambye nti emikono gy’Obwakabaka myanjulukufu eri munnabyabufuzi, omukulembeze oba omuntu yenna ayagaliza era awagira ebirowoozo by’Obwakabaka ku nfuga ekika kino.
Minisita Kiyimba ategeezezza nti Buganda erina omugabo munene nnyo mu Uganda nga eggwanga okugenda mu maaso erina okusibwa ku mwanjo kuba okutebenkera kwa Buganda kwekwa Uganda.
Owek. Kiyimba agamba nti Buganda eyagala nnyo okugabana obuyinza mu kukkaanya okusobola okumalawo embeera y’obutali bwenkanya eriwo mu by’obukulembeze n’ebyenfuna n’engabana y’ebyobugagga by’eggwanga mu kiseera kino.
Ono era annyonnyodde nti waliwo obwetaavu okutuula ku mmeeza okusobola okugonjoola ebizibu ebiri mu ggwanga obuli eby’obulamu ebibi, ebyenjigiriza kuba ensimbi nnyingi ezibbibwa nezitakola byezirina kukola bwewaba wakubaawo Uganda eyeeyagaza buli muntu.
Eyavuganyako ku bwapulezidenti, Elton John’s Mbiriizi ategeezezza nti baagala Obwakabaka okukulemberamu kaweefube wokulaba ng’Eggwanga lidda ku nfuga eya Federo okumalawo emiteeru egiri mu by’Obufuzi byéggwanga.
Mabiriiizi era akwasizza minisita akatabo akatuumiddwa “Munnansi (The Citzen)akalambika akawonvu ku by’obufuzi by’eggwanga ate nebisuubirwa okukolebwa okubitereeza.









