
Bya Francis Ndugwa
Bulange -Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwakuvaayo n’ekyenkomeredde ku nsonga y’ettaka lya Mayiro kuba bingi byogeddwa, ekireeseewo obunkenke mu bantu ba Kabaka.
Okwogera bino Katikkiro abadde mu Lukiiko lwa Buganda olusookedde ddala mu mwaka guno 2022 olwomulundi ogwa 29 ng’okusinga lulambuludde ebyo Ssaabasajja bye yalulambika okulondoola. Olutuula olwaleero lubadde lukubirizibwa Sipiika Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.
“Ekiriwo ennyo ensangi zino kikwata ku nsonga y’ettaka lya mayiro. Mmanyi nti ensonga eno yaleetawo obukenke si mu Buganda yokka naye n’abalala ababeera mu Buganda era ensonga eno tugyetoolodde. Tugenda kukola enteekateeka ey’enjawulo Olukiiko luno luyitibwe lwanjulirirwe alipoota ku ttaka lya Mayiro mu Buganda.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Okusinziira ku Katikkiro, omulimu gw’okukola alipoota eno gwakwasibwa Minisita ow’emirimu egy’enkizo mu Buganda, Owek. Daudi Mpanga, Minisita w’ebyettaka n’ekitongole kya Buganda Land Board era ajja kulimbulula obulimba obubadde butambuzibwa bannakigwanyizi.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde mu Lukiiko luno olusookedde ddala mu mwaka 2022 olwa 29 oluvannyuma lwa Ssaabasajja okulambika Buganda n’ensonga ssatu z’ayagala enkulu ezirina okugobererwa.
Mu nsonga zino mulimu; enguzi ey’ekika kyonna nga eno yali ku mwanjo mu bigambo by’Empologoma era Kamalabyonna asabye abakiise okulambika abantu ku kulwanyisa enguzi nga batambulira mu bigambo by’Empologoma nga batandikira mu bo bennyini era n’asaba abantu bonna okwenyigiramu era baasanguze ababeera bagiridde.
Ensonga endala erambuluddwa ya bannakigwanyizi aboogera amawulire g’obulimba ku Buganda nga wano abakiise bagamba nti singa abakulembeze baba n’okumanya mu kuyita mu kunoonyereza, kijja kuyambako okugasaabulula.
Ku nsonga y’ekirwadde kya Mukenenya abakiise bawadde biki ebiyinza okukolebwa omuli okwongera ku bupande obujjukiza abantu ku kirwadde kino, okwongera okubuulirira abaana, abafumbo okuwang’ana ekitiibwa, okuwuliziganya n’ensonga endala.
Mu lukiiko luno Kamalabyonna Mayiga asabye enkola eya bassenga ne bakojja okuddamu okusembezebwa kitaaseeko ku baana abafuna embuto nga tebanneetuuka.
Wano Owek. Mayiga abadde ayanukula omukiise Dr. Michael Ssettabi okuleeta ekibuuzo Buganda w’eyimiridde ku nsonga eno y’abaana abongera okufuna embuto.

Ono era alaze nga bwe bagenda okusisinkana ababaka ba Palamenti ne bassentebe ba disitulikiti ku kirina okukolebwa, okutaasa obutonde bw’ensi obwongera okusaanawo buli kadde.
Olukiiko luyisizza ebiteeso bisatu okwebaza Omutanda olwokubalambika obulungi, okweyama okulondoola ensonga Ssaabasajja ze yalambika n’okukasa nti zissibwa mu nkola. Olukiiko lwebazizza nnyo alipoota y’omuwanika wa Buganda era bw’atyo Omukubiriza n’aluggala.









