
Bya Gerald Mulindwa
Obwakabaka butandise kaweefube w’okubangawo omukago ne Regis College Massachusetts mu America.
Baminisita Oweek. Noah Kiyimba akiikiridde Katikkiro ne Owek. Joseph Kawuki, basisinkanye abakulira Regis College ne babaako enteeseganya ze beenyigiramu. Ba Minisita bannyonnyodde ebikwata ku Bwakabaka bwa Buganda ne balaga obwetaavu bw’enkolagana mu kutumbula ebyenjigiriza n’ebyobulamu naddala nga bakolagana ne Muteesa I Royal University.
President wa University eno Antoinette M.Hays asanyukidde ensisinkano eno n’ategeeza nti beeteefuteefu okukolagana n’obwakabaka naddala mu kusomesa abasomesa (faculty training), okusomesa abayizi naddala ku mutimbagano, okugezesa abayizi (internship), okuwanyisiganya mu byobuwangwa(intercultural exchange), okubangula abasawo, n’ebirala era President alaze obwetaavu bw’okukyalira Muteesa I Royal university.
Batuuse ku kukkaanya nti Obwakabaka bu bawandiikire mu butongole ku nsonga ezikkaanyiziddwako okuggyayo obwetaavu bwabwo.

Ba Minisita babadde ne Oweek. Henry Matovu Ndawula Omubaka wa Kabaka mu Ssaza New England, N’Omumyukawe Phionah Nattabi Kafeero, Dr. David Nyanzi ne Allen Namukasa.President wa University abadde ne Vice President academic affairs, Mary Erina Driscoll, Vice President communications Michael K.Guilfoyle ssaako Vice President global affairs.