Bya Yusuf Muwulizi
Buddu- Masaka
Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka lya Buganda ekya Buganda Land Board basinkanye abaami b’amasaza okutema empenda ku ngeri y’okukuumamu ettaka lya ly’Obwakabaka nga balikulaakulanya balitaase ku babbi.

Ensisinkano eno ebadde ku Hotel ya Maria Flo mu kibuga Masaka, olunaku lw’eggulo nga yeetabiddwamu ab’amasaza okuva e Buddu, Mawogola, Kabula Ssese ne Kkooki era nga Minisita Mayanja Nkalubo yabadde omubanguzi omukulu.
Minisita Nkalubo akubirizza abaami ba Kabaka okutwala abantu Kabaka ng’ekyobugagga eky’ensibo kye balina.
“Ekinaafuga ebyo byonna bye tusomye naddala ebikwatagana n’ettaka, bwerufu. Abaami mubeere be bw’erufu” Owek. Mariam bw’atyo bw’ayogedde.
Akulira ekitongole Kya Buganda Land Board, Simon Kabogoza, ategeezezza ng’ebbeeyi y’ettaka erinnya wano mu Buganda buli lukya nga balina okukola ennyo okulaba nga balikuuma lireme kutwalibwa bannakigwanyizi.
Kabogoza agambye nti omuwendo gw’abantu gweyongera buli kadde ate ng’ettaka teryeyongerako nga kino kye kireese ensala y’emisango efumbekeddemu enguzi era nga balina okukimanya nti okusoomoozebwa kwe boolekedde kw’amaanyi.
Ppookino Jude Muleke ng’ono ye ssentebe w’abamasaza yennyamidde olw’abamu ku baami b’amasaza abatwala ettaka lino ng’eryabwe ne batuuka n’okusenza abantu ku mbuga z’ettaka.
Abeetabye musomo guno basabye aba Buganda Land Board okutalaaga buli ssaza nga babasomeseza wamu n’abaami b’amagombolola kuba buli ssaza lirina okusoomoozebwa kw’alyo kuba bwekitaba ekyo, ettaka lino lyalisaanyizibwawo abatamanyag’amba.

Omusomo guno mu kusooka tegukkiriziddwamu bannamawulire era ng’abasomesa ab’enjawulo babangudde abaami bano kuliko; Munnamateeka Denis Bugaya, Kizito bashir, Omukungu Luutu, Ssonko lameck, Martin Mujabi, Hajjat Rehema Nanvuma n’abalala.