• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda etutte abaagala  okubba ettaka lya Ssaabawaali Kapeke mu kkooti

Gambuuze by Gambuuze
July 19, 2022
in Amawulire
0 0
0
Buganda etutte abaagala  okubba ettaka lya Ssaabawaali Kapeke mu kkooti
0
SHARES
76
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda bututte abamu ku bantu abaagala okubba ettaka ly’ eggombolola ya Ssaabawaali Kapeke  eriwerako yiika 4 nnamba mu kkooti enkulu e Mubende

“Kabaka wa Buganda yatutte ensonga mu kkooti enkulu e Mubende nga avunaana David Nsubuga, Nnyina Nandawula Victoria Kisomose n’abalala abeekobaana okubba ettaka ly’Obwakabaka eriri mu Kiboga Ttawuni kkanso,” Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika bw’ategeezezza bannamawulire e Bulange Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Bwanika agamba nti Buganda ebadde n’obwannanyini ku ttaka lino okuva mu 1925  nga Buganda yalifuna okuva ku famire y’ omugenzi Teera Munaakulya eyali musajja wa Kabaka ku mulembe gwa  Ssekabaka Daudi Cwa.

Okusinziira ku Bwanika, Teera yafuna sikweya mayiro 8 ku ttaka erimanyiddwa nga Ssingo ku bulooka 655 era ono oluvannyuma yaddiza Buganda yiika 4 ku ttaka eryo olw’obwetaavu obwaliwo nga abantu beetaaga eddwaliro.

Ono annyonnyodde nti mu myaka gya 1930, Obwakabaka bwateekako eddwaliro nga okusooka lyali lya ssubi wadde oluvannyuma bazimbako ebizimbe eby’obuwangaazi era lizze likozesebwa okuyamba abantu b’ekitundu.

Owek. Bwanika agamba nti mu mwaka 2017 waliwo abasaatuusi abavaayo nga bakulembeddwa Nsubuga nga akozesa Nnyina Kisomose eyali akola mu ttawuni kkanso y’e Kiboga nebafuna ekyapa ku ttaka lino mu kiseera ttawuni kkanso weyali ekolerera enteekateeka y’okumanya obwannanyini ku ttaka lino.

Agasseeko nti mu bukujjukujju bano basooka kuliwandiisa mu mannya g’omwana omuto Reagan Ssempebwa kyokka oluvannyuma nekizuulwa nti ebiwandiiko byali bijingirire era Kamisona nasazaamu ekyapa.

Owek. Bwanika agamba nti Nsubuga yaddamu naluka olukwe olulala nafuna ebyapa ku ttaka lino okuli ekya Bulooko 655 ne 218 era zino abadde amaze okuzitemamu Poloti okwongera okulweza.

Ssaabawolereza annyonnyodde nti ensonga eno bazze bagyetereza era bafunye obujulizi obumala era kati nga eyita mu kampuni ya KSMO Advocates bano babatutte mu kkooti.

Kati Buganda eyagala kkooti eyise ekiragiro ekikakasa nti ettaka lino lya Bwakabaka kuba bulibaddeko okumala ebbanga era libadde ligasa bantu.

Era Obwakabaka busaba ebyapa Nsubuga byafunye bisazibwemu kuba Buganda erina entegeeregana nabatwala Ttawuni kkanso wamu ne disitulikiti ye Kiboga.

Owek. Bwanika agamba nti Nsubuga ne banne bayitiddwa dda mu kkooti  era ensonga zigenda kuwulirwa era bakakasa nti bano bakulagirwa obutaddamu kusaalimbira ku ttaka lino.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki  ategeezezza nti nga Minisitule bakulondoola ettaka lyonna nga wadde batandikidde Kapeke naye bakutalaaga Obwakabaka bwonna okusobola okununula ettaka lino.

Bino webijjidde nga abantu ba bulijjo awamu n’abakulu mu gavumenti bakyagenda mu maaso n’okwesenza ku mbuga z’eggombolola ez’ enjawulo nekigendererwa ky’okwezza ettaka kweziri.

Kaweefube waffe okufuna Nsubuga ne banne agudde butaka oluvannyuma lw’okukuba ku ssimu zabwe ezituweereddwa nga teziyitamu.

Share this:

Tags: Buganda KingdomOwek. Christopher BwanikaOwek. Joseph Kawuki
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.