Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole kya Buganda ekikola ku bibalo ki Buganda Statistics Unit kifulumizza enteekateeka Nnamutaayiika egenda okugobererwa Obwakabaka buteekerateekera abantu babwo awamu n’okusobola okuggusa emirimu okutumbula embeera z’abantu.
Enteekateeka eno etongozeddwa ku Lwokusatu mu Bulange e Mmengo era bw’abadde akola omukolo guno Omumyuuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya ne Tekinologiya mu Buganda Owek. Twaha Kigongo Kaawaase yeebazizza ekitongole kino olw’enteekateeka eno.
“Ndi Musanyufu nti ekitongole ky’ ebibalo ki Buganda Statistics kyakoze ku nteekateeka Nnamutaayiika okusobola okubaako byetutuukiriza. Mbakakasa bwolemererwa okuteekateeka oba oteekateeka kulemererwa, era enteekateeka eno egenda kutuyamba okugenda mu maaso,” Owek. Kaawaase bw’agambye.
Owek. Kaawaase ategeezezza nti Obwabaka bwesigamye nnyo ku bibalo okuteekerateekera abantu babwo nga bakolagana butereevu ne gavumenti eyawakati okusobola okutuusa enkulaakulana ku bantu nga bayita mu nteekateeka Nnamutayiika ey’emyaka 5 nga balambikibwa ebibalo.
Ono ategeezezza nti bakulondoola enteekateeka eno nga bwebagezaako okugiteeka mu nkola era bakukwasaganya ebibalo awamu ne Tekinologiya okusobola okuganyula abantu ba Kabaka era nasaba bboodi okukola ebyetaagisa okugiteeka mu nkola.
Ono yeebazizza Ssenkulu wa Uganda Bureau of Statistics ( UBOS), Dr. Chris Mukiza olw’okubayambako okuteekateeka ekitongole ky’Ebibalo mu Buganda era nayozaayoza bboodi etongozeddwa.
Minisita w’ Ebyensimbi mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asuubizza okwongera amaanyi mu tekinologiya w’Obwakabaka ng’ekitongole kibuwa ebyuma bikalimagezi nokwongera ku bakozi mu nsonga z’ebibalo.
Ye Ssenkulu wa UBOS, Chris Mukiza agambye nti Obwakabaka bwebumu ku bukola awamu n’okukozesa ebibalo mu ggwanga nategeeza nti oluvannyuma lw’okukolagana ne Buganda, obukulembeze bw’ensikirano obulala nga Bunyoro ne Busoga nabyo bivuddeyo nebitandika okutwala ensonga y’ebibalo nga nkulu kiyambe okupima byetwagala okukola.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulira bboodi y’ekitongole ky’ Obwakabaka ekyebibalo nga bakulembeddwamu Ssentebe ESK Muwang Zaake awamu n’abakungu abalala.