Bya Gladys Nanyombi
Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole ky’ eggwanga eky’ebibalo ekya Uganda Bureau of Statistics (UBOS), okwongera okunnyikiza kaweefube w’okukulaakulanya abantu ba Ssaabasajja Kabaka wamu n’emirimu okutambula obulungi.
Omukago guno gukoleddwa nga bayita mu kakiiko k’Obwakabaka akavunaanyizibwa ku bibalo aka Statistics Unit, akakulirwa omukungu Muwanga Zaake wansi wa woofiisi y’omuwanika, nga kano ke kagenda okukolagana n’ekitongole kya UBOS.
Endagaano eteereddwako omukono wakati w’Obwakabaka n’ekitongole kya UBOS mu Bulange. Okusinziira ku bakugu buli ludda luliko obuvunaanyizibwa obuluweereddwa.
Bw’abadde atongoza omukago guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza, nti ayagala emirimu gy’Obwakabaka okutambuzibwa ku nteekateeka ennungi nga beeyambisa ebibalo ku mitendera egy’enjawulo.
Owek. Mayiga yagambye nti Buganda eyagala okutwala emmwanyi mu bantu, okwongera okugema abaana n’okumanya ebintu abantu ba Buganda bye bakola basobole okuzza Buganda ku ntikko.
“Tosobola kusalawo kituufu okutuusa ng’ekyetaagisa okitegedde era omukago guno gujjidde mu kiseera ekituufu,”Mayiga bw’ ategeezezza.
Kamalabyonna yasuubiza okwongera amaanyi mu mukago guno kuba gugenda kubayamba okumanya embeera bw’eyimiridde mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo era kibayambe okugoba obwavu mu bantu ba Kabaka era bakulaakulane.
Ye Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, atenderezza kaweefube wa Katikkiro Mayiga ow’okulaba nga batuuka ku ndagaano eno egenda okwongera okulambika ebitongole bya Ssaabasajja Kabaka n’abantu be.
Ssenkulu w’ekitongole ki UBOS, Chris Mukiza, asanyukidde endagaano eno era n’asuubiza okuwaayo obuyambi ku mitendera egy’enjawulo okulaba ng’evaamu ebibala.
Mukiza agambye nti balina essuubi nga bwe bakwatira awamu ne Buganda ku nsonga eno, bagenda kukola ebintu bingi ebigasa Buganda ne Uganda.
Kinajjukirwa nti, ng’ennaku z’omwezi 11/08/2020 ekitongole kya UBOS kyatongoza akakiiko ka Buganda ak’ebibalo akamanyiddwa nga ‘statistics Unit’ era nekatandika emirimu.