• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Buganda esse omukago ne Uganda Law Society okuyamba abeetaavu

Gambuuze by Gambuuze
May 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Buganda esse omukago ne Uganda Law Society okuyamba abeetaavu
0
SHARES
96
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi
Bulange -Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongozza omukago wakati wa Buganda awamu n’ekibiina ekitaba bannamateeka ekya Uganda Law Society ogugendereddwamu okutuusa empereeza ku bantu abeetaavu mu Buganda ne Uganda.

Bw’abadde atongoza omukago guno leero mu Bulange e Mmengo, Mukuumaddamula agambye nti abantu bangi balowooza nti ensonga z’amateeka z’abayivu, bokka ne balemererwa okufuna obwenkanya mu nsonga ez’enjawulo mu bitundu eby’enjawulo.

“Ssaabasajja Kabaka agoberera nnyo ensonga z’amateeka, ekitongole ekiramuzi wamu n’ensonga y’Obwenkanya, era okuva mu mukago guno tulowooza nti aba Uganda Law Society bajja kwongera okutuuka ku bantu wansi mu byalo, basobole okufuna obwenkanya.” Owek. Mayiga bw’agambye.

Ono annyonnyodde nti amateeka galina okuganyula buli muntu naddala abanaku, abaana aboobuwala, abakazi, abatamanyi kusoma na kuwandiika awamu n’abo ababeera mu byalo ewala. Ayongeddeko nti waliwo obwetaavu okulaba nti bano nabo bafuna obwenkanya .

Owek. Mayiga alabudde nti ebya Uganda okukula tebisoboka singa abantu abeetaavu tebafuna bukuumi mu mateeka. Yeeyamye okukuuma endagaano eno ku lwa Buganda era n’asuubizza okulwana okulaba ng’evaamu ebibala.

Atadde omukono ku ndagaano eno ku lwa Buganda era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Christopher Bwanika, agambye nti kino bakikoze okwongera okutuusa obuweereza bw’ebyamateeka ku bantu ba Kabaka wansi mu byalo naddala abo abeenyigira mu by’obusuubuzi.

Okusinziira ku Owek. Bwanika omukago guno, gwakuyamba abantu okufuna entaputa y’amateeka era nga bagoberera endagaano eno, baakufuba okukozesa enkiiko z’amasaza n’eggombolola okulaba nti aba Uganda Law Society batuuka wansi ku bantu.

Minisita agamba nti Obwakabaka bulina ekigendererwa ky’okuzzaawo ebitaawuluzi, kiyambe kukukendeeza enguzi n’okutaasa abantu ku butitimbe bw’ensimbi bwe bakozesa nga banoonya obwenkanya ky’agambye nti abamu kibalemesa okubufuna.

Ye Pulezidenti wa Uganda Law Society era nga y’atadde omukono ku ndagaano, Phiona Wall, annyonnyodde nti ebbula lya bannamateeka bamala kye kimu ku bizibu ebivuddeko bbiizineesi ezimu okugwa era wano we basinzidde okutandika okubangula abasuubuzi mu nsonga z’amateeka.

Wall asabye bannayuganda bulijjo okuteeka bannamateeka mu bbiizineesi zaabwe beewale emivuyo era kibayambe okufiirizibwa. Enteekateeka eno yakutandikira mu masaza okuli Busiro, Buddu ne Mawokota era egendereddwamu okulaba ng’omuntu asembayo wansi afuna obwenkanya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.