Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda, nga buyita mu kibiina ky’Olulimi Oluganda, busse omukago ne Stanbic Bank, okuteekateeka omwoleso ku by’ensoma by’abaana kiyambeko okutumbula olulimi Oluganda n’ebyensoma.
Enteekateeka eno entongozeddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Christopher Bwanika, wansi w’omulamwa ‘Nange ka Nsome’, ku Mmande e Bulange e Mmengo.
Bw’abadde atongoza omukago guno, Owek. Bwanika akunze amasomero n’abazadde okweyuna omwoleso guno basobole okwongera okubanguka mu lulimi Oluganda.
Owek. Bwanika yeebazizza Stanbic olw’ okwegatta ku Bwakabaka okutumbula olulimi oluganda nebyenjigiriza emu ku mpagi enkulu eziyimirzaawo Buganda n’eggwanga okutwaliza awamu .
Amyuka Ssenkulu wa Stanbic Bank, Emma Mugisha, annyonyode nti beenyigidde mu nteekateeka eno, okuyambako okutumbula eby’enjigiriza ebyataataaganyizibwa COVID19, awamu n’okusomesa abantu ku bukulu bwokutereka ensimbi.
Stanbic Bank era ewaddeyo ensimbi obukadde 20 ziyambeko ku nteekateeka y’Omwoleso guno.
Ssentebe w’ekibiina ky’Olulimi Oluganda, Fred Kisiriko Lukabwe ategeezeza nti enteekateeka eno egendereddwamu okugatta nokutabaganya abazadde , abayizi nabasomesa okwongera okutegeera obukulu bwebyenjigiriza .
Omwoleso guno gwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti, “Nange ka Nsome” nga gutandika okuva nga 21 paka 22, Gatonnya, 2023, mu Butikkiro Tourism Center, e Mmengo.