Bya Ssemakula John
Kampala
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu Minisitule y’Abavubuka, busse omukago ne kkampuni ya Protea Hotel okubangula abavubuka mu by’emikono okuyamba okukendeeza ku bbula ly’emirimu eriri mu ggwanga.
Minisita w’Abavubuka, emizannyo n’Okwewummuza, Owek. Henry Kiberu Sekabembe y’ataddeko ku lw’Obwakabaka ate Muky. Musiima Rona n’assaako ku lwa Protea Hotel era bino byonna bikoleddwa mu maaso g’Omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek. Waggwa Nsibirwa.
Eyakiikiridde Katikkiro Mayiga ku mukolo guno era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Waggwa Nsibirwa, ategeezezza nti baakusoosowaza abavubuka mu buli ngeri yonna.
“Ekintu kye tulina kati mu ggwanga ekitugulumbya bwe bulwadde bwa Ssennyiga Lumiimamawuggwe naye ekintu ekisinga okusoomooza buli mukulembeze naddala abali mu byenfuna, be bavubuka abalina emyaka 15- 35 abakeera ku makya nga tebalina kye bakola ate nga balina ebyetaago.” Owek. Nsibirwa bw’agambye.
Kino Minisita Waggwa agamba nti kyabulabe kuba abavubuka bano bakozesa engeri ezimenya amateeka okusobola okufuna ssente beetuuseeko ebyetaago bino, n’akakasa nti omukago guno gujjidde mu kaseera katuufu.
Minisita Ssekabembe agambye nti we batuukidde wano ng’abavubuka bamaze dda okwewandiisa era enteekateeka eno esimbidde ddala mu nnambika y’abavubuka mu Buganda wamu n’enteekateeka Nnamutayiika eya Buganda egendererwamu okuzimba obukugu mu bavubuka.
“Ogumu ku mulamwa omukulu kwe kuzimba obukugu mu bavubuka baffe wakati w’emyaka 18- 35 naye ng’ebitundu 70 ku 100 baana baabuwala. Era tugamba abavubuka baffe nti buli ky’onookola olina okukifunamu obukugu osobole okuteeka ku katale ekintu kyonna ky’otunda nga kyamutindo.” Minisita Ssekabembe bw’agambye.
Ono agamba nti ekirala kwe kuwa abavubuka emirimu ng’ensi w’etuuse abavubuka tebeetaaga kutambula na mpapula nga banoonya emirimu naye basobola okutandikawo egyabwe nga beesigama ku bukugu.
Minisita Ssekabembe abavubuka abasabye okukulembeza omutindo mu buli kye bakola si mu mirimu gyokka naye ne mu bulamu bwabwe ng’abantu.
Okusinziira ku Minisita Ssekabembe, mu birala mu nteekateeka eno, kwe kufunira abavubuka obutale era baagala okulaba ng’abavubuka beetaba butereevu mu kwekulaakulanya bakomye okulindirira gavumenti okubayamba.
Owek. Ssekabembe asiimye aba Protea Hotel olw’okusalawo okukolagana ne Buganda era n’abasuubiza okwongera okukolagana nabo okutumbula embeera z’abantu mu ggwanga.
Omukungu wa kkampuni ya Protea Hotel, Musiima Rona ategeezezza nti okusinga enteekateeka eno yaakuyamba abavubuka naddala aboobuwala nga bayiga okukola ebyemikono n’ebyokulya n’okunywa era bakkiriza nti nga bayita mu Bwakabaka bajja kutuuka ku bantu abawera mu ggwanga lyonna.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo annyonnyodde nti enteekateeka eno yaakutwaliramu amasaza gonna aga Buganda wadde nga batandikidde ku Kyaddondo ne Busiro era nga basusuddwa mu bwenkanya.
Okusinziira ku mukago guno, abavubuka 199 be bagenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno etuumiddwa 500k ng’ewagiddwa aba Private Sector Foundation awamu ne Mastercard Foundation era baruubirira okulaba nga batondawo emirimu egiwera emitwalo 50 eri abavubuka n’abakyala.