
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’ekitongole kya Directorate of Industrial Training (DIT) okutumbula emirimu n’amasomo g’ebyemikono, kisobozese okulwanyisa obwavu mu bavubuka olwo ensi Uganda esobole okukulaakulana.
Omukolo guno gwayindidde mu Bulange e Mmengo era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yabaddewo ng’omujulizi ng’omukungu Anthony Wamala yataddeko omukono ku lwa Buganda.
Mu kwogera kwe, Owek. Waggwa Nsibirwa yategeezezza nti abakulembeze ku mitendera gyonna bakyalemeddwa okubuulira abavubuka ku ngeri entuufu gye basobola okwettanira emirimu gy’ebyemikono beekulaakulanye.
“Abantu baffe bagenda kwongera okweyunirwa bafune emirimu ng’alina kyatwalayo n’alaga eri oyo agenda okumuwa omulimu awamu n’okwanguyiza agenda okumuwa omulimu.” Owek. Nsibirwa bw’e yannyonnyodde.
Owek. Waggwa yategezezza nti endagano eno yateereddwako omukono wakati w’Obwakabaka n’ekitongole kya DIT, yaakuyambanyo okumalawo ebbula ly’emirimu mu bantu ba Ssaabasajja naddala abavubuka wamu n’okuyamba abavubuka ku ntambuza y’emirimu .
Ono yayongeddeko nti abantu bwe banaafuna ebbaluwa ezikakasa bye basomye, kyakukendeeza ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka mu ggwanga kubanga abantu bajja kuba balina bye basobola okukola ebivaamu ssente nga sibangu kusendebwasendebwa kuyingiza mu mize.
Ate ye Minisita w’ebyenjigiriza n’enkulaakulana y’abantu mu Bwakabaka, Owek. Dr. Prosperus Nankundu Kavuma yategeezezza nti Obwakabaka bulina obusobozi okukyusa endowooza z’abantu okulaba nga beekulaakulanya, ng’omukago ogwakoleddwa bagenda kusooka kubangula baami ba Kabaka ne bajjajja ab’obusolya nabo basobole okutambuza omulamwa gwagwo.

Ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa DIT, Dr. Ruth Biyinzika yasabye abayizi, abazadde n’abantu abalala abasoma okulekerawo okulowooza ku masomo g’okufuna Ddiguli zokka wabula balowooze ne ku kusoma ebyemikono, okwetandikirawo emirimu.
Eyataddeko omukono ku lwa Buganda era ssenkulu w’ettendekero lya Buganda Royal Institute, Omukungu Anthony Wamala agamba nti endagaano eyakoleddwa yaakumalawo okusoomoozebwa abayizi kwe babadde basanga, obutabeera n’ebiwandiiko bikakasa bye baasoma era nga baakutambulira ku biteekeddwa mu mukago guno.









