Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ki BUCADEF bukoze endagaano n’ekitongole Kya Kampala Domestic Stores nga bakolera wamu naba Private Sector Foundation okwongera okubangula abavubuka kungeri gyebasobola okulima kirime ky’ Emmwaanyi n’okuzitunda mu nteekateeka etuumiddwa ‘Coffee for Decent Youth Employment.’
Omukolo gw’okutta omukago guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri era nga minisita omubeezi ow’ebyobulimi, Owek. Hajji Hamis Kakomo yataddeko omukono kulwa Buganda ate Kimuli John nateekako kulwa Kampala Domestic Stores.
Bino byonna bikoleddwa mu maaso g’ Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng’omujulizi era nasaba abavubuka okukomya okulowooreza mukuweebwa.
“Ng’Obwakabaka twakizuula nti omuntu yenna ayogera ku kutwala eggwanga lyonna mu maaso notasoosowaza nsonga z’ abavubuka oba werimbye. Neebaza minisitule y’ebyobulimi n’omukago guno olw’okutulaga engeri ensonga z’abavubuka bwezirina okukwatibwamu bwekituuka ku mmwaanyi,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza.
Ono yeeyamye okuyambako okutuukiriza endagaano eno esobola okuganyula abavubuka wonna mu Buganda kubanga bano baakolaganye n’omuntu omutuufu
Owek. Kaawaase abavubuka abasabye okukomya okwagala ebyamangu naye beweeyo bakozese emikono gyabwe beegobeko obwavu.
Ye minisita Kakomo agambye nti emirimu mingi egigenda okukolebwa mu mukago guno omuli okuyigiriza abavubuka okugula emmwaanyi, n’okudaabiriza ennimiro zaazo, n’okukakasa nti abavubuka bafuna emirimu egy’obuvunanyizibwa n’ebirala.
Akulira entambula y’emirimu mu Kampala Domestic Stores, Kimuli John ategeezezza nti omukago guno gwakuyamba abavubuka okutandikawo ennimiro zabwe n’okubatendeka ku by’okusuubula n’okutunda emmwaanyi.
Enkola eno yatandika dda mu masaza agawera 7 ate nga zo disitulikiti ziri kumi okuli, Masaka, Mpigi, Lwengo n’awalala.