Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda bukuzizza olunaku lw’abantu abaliko obulemu, Beene lweyasiima lukwatibwe nga Decemba 14 okusobola okubabudaabuda n’okubazzaamu amaanyi.
Emikolo emikulu gibadde mu Bulange e Mmengo leero ku Lwokusatu nga gusitudde ebikonge okuva mu gavumenti eyawakati ne Buganda.
Omukolo guno gutandise nakulambula midaala gy’ebintu ebikolebwa abaliko obulemu era olumaze bano neboolesa ebitone ebyenjawulo.
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Waggwa Nsibirwa asinzidde wano nasaba abakulembeze ku mitendera egyenjawulo okusosowaza ensonga zabaliko obulemu naddala mu byenjigiriza nebyenfuna nabo basoble okwekulakulanya.
Ono era ayanjudde enteekateeka yobwakabaka eri abaliko obulemu nga muno memuli nokuteeka akawunguzi oba Lift mu kizimbye kya Bulange kisobozese abaliko obulemu okutambuliramu obulungi, bwatyo nasaba abazadde obutasososla baaana baliko bulemu nokufuba okulaba nga benyigira mu milimu egyenjawulo.
Minisita Omubeezi owensonga zabaliko obulemu mu gavumenti eyawakati, Asamo Hellen Grace asabye abaliko obulemu okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ezenjawulo nga bayita mukwekolamu ebibiina saako okwenyigira mukuzaawo obutondebwensi obutaaguddwataguddwa.
Ye minisita w’ Amawulire era omwogezi wa Buganda, Owek. Noah Kiyimba asabye abazadde bulijjo okwekeneenya abaana babwe basobole okwanguwa singa balaba obubonero bwonna obuyinza okubaleetera obulemu nga okuggwaamu amaanyi mu binywa.
Owek. Kiyimba asabye abantu abantu bonna okuwagira abazadde abalina abaana abaliko obulemu basobole okubakuza obulungi era nakubiriza abagoba ebidduka okuvuga n’obwegendereza, beewale endiima eyinza okuleeta obubenje n’okwongera ku muwendo gw’abaliko obulemu.
Oluvanyuma waliwo abantu babiiri okubadde omukyala nomwana Ssaabasajja basiimye bawebwe obugaali basobole okwanguyirwa mu by’entambula.