Obuganda ekuziza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’ebitundu ku mbuga y’egombolola ya Mutuba 1 Kiziba Masuliita. Olunaku lwe lumu Obwakabaka bukuziza ameefuga gaabwo ag’emyaka 57.
Ku mukolo guno ogubadde e Masuliita mu Busiro Ssaabasajja akwasizza James Kabiito omulimi asinze okwerwanako nga muto engule ey’obuwanguzi nga ava mu Ssaza lye Buddu.
Mu ngeri yeemu Kabaka akwasizza e Ssaza lye Busiro engabo n’ensimbi obukadde musanvu oluvannyuma lw’okusinga mu Masaza gonna okuteeka mu nkola enteekateeka z’obwakabaka wamu n’okukulaakulanya e Ssaza lyabwe.
Katikkiro wa Buganda ategeezezza nti Ekimu kubinaakuuma obutonde bwensi, kwekusimba emiti nga tuyita mu mikolo egy’enjawulo okuli; okwanjula, abasiraamu nga bavudde mu kulamaga (Hijja), embaga, ennyimbe, obubaga bw’amatikkira (Graduation) n’amazaalibwa( Birthday).
Mu kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka agambye bwati; “Twebaza abategesi n’abayizi abatusanyusizzaamu olw’okugumira ekire ky’enkuba, omukolo nebagufuula ogw’essanyu era ogw’ebyafaayo. Njagala okusooka okwebaza abakulembeze be Wakiso nga bakulembeddwa mwami Matia Lwanga Bwanika, olw’okulwanirira obutonde bwensi, ogwo gwemutima gwetwagala ogwa Bulungibwansi. Era twebaza Mw. Luke Lukoda akulira abakozi mu district ye Wakiso, olw’okukkiriza abakozi okwegatta mu nteekateeka za Buganda. Enkolagana eno yensibuko yokulaakulana okw’abantu baffe, era tubeebaza okujjumbira emikolo gy’obwakabaka egitali gimu.
Twebaza nnyo Ssebwana awamu n’abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, olw’obuweereza obulungi n’enteekateeka z’emikolo gya leero. Tulina okukimanya nti abaami ba Kabaka ba nkizo nnyo mu kukuunga abantu, mu kubasomesa, n’okubeera eky’okulabirako mu bukulembeze n’embeera endala ez’ebyenkulaakulana. N’olwekyo tukubiriza abaami ba Kabaka okukola ennyo n’okuteekawo olutindo olw’empuliziganya wakati waabwe ng’abakulembeze ate naabo bebakulembera.
Mu ngeri yeemu, tusaba abaami ba Kabaka okukuuma n’okulabirira ettaka ly’obwakabaka nga mukolagana n’ekitongole kya Buganda ekikola ku ttaka .Waliwo abantu ennaku zino abaagala okukozesa olukujjukujju okusirikira n’okweddiza ettaka n’ebintu ebirala ebiri ku ttaka ly’obwakabaka. Mu ngeri yeemu musaana n’okuyamba abantu baffe abalina ettaka, kubanga abagezigezi bayita mu makubo amakyamu nebafuna ebyapa nebefuula bannanyini ekiddako kwekugobaganya abantu.
Eby’obulamu, Nga bwetubategeeza bulijjo, tetujja kuzimba Buganda nga tetuli balamu, n’olwekyo twongera okubakubiriza okwekuuma, okwekebeza n’okwejjanjaba obulwadde bwa siriimu n’endwadde endala.
Mu mwaka 2017 omuwendo gw’abantu abaakwatibwa siriimu gwali gusse okuva ku bantu 90% okutuuka ku bantu 42%, okusinziira ku miwendo egyo, tulina essuubi nti omuwendo gweyongedde okukka. Ago amawulire ga ssanyu era gatuwa essuubi nti olutalo siriimu tujja kuluwangula. Twebaza minisitule y’obwakabaka ey’ebyobulamu, ne radio yaffe CBS, olw’omulimu omunene gwebakoze, okukubiriza abasajja okugenda okwekebeza siriimu.
AIDS Information Center, ekitongole ekikungaanya amawulire gonna agakwata ku nsasaana ya siriimu, balaze mu byebazudde mu bbanga ery’emyezi ebiri egiwedde, nti mu Wakiso ne Kampala, abasajja basinze abakyala okwekebeza, nga abaami 60% ate abakyala 40%, songa emabegako kibadde, abakyala 70% ate abaami 30%. Kino kikulu nnyo ddala kubanga ekizibu ekikulu ennyo mu kulwanyisa obulwadde buno, kibadde nti abaami babadde n’okutya kuyitirivu okwekebeza. Twongera okubiriza abasajja n’abalenzi okutwala ensonga y’okwekebezanga nga nkulu, ssi siriimu yekka naye n’endwadde endala zonna.
Nga mbasiibula, njagala okwebaza abo bonna betulambudde era n’okwebaza abo abakuuma era abalabirira amasiro ga Ssekabaka Kiyimba. Njagala okwebaza abo abakoze ku kulabirira n’okuyoyota embuga ya Ssebwana, twebaza bannaffe aba Uganda scouts abatusanyusizza olwa leero, batulaze omutindo gwa waggulu ddala,n’okusingira ddala njagala okwebaza abo bonna abatuletedde Amakula amayitirivu obulungi okuviira ddala lwetwatandika okulambula n’emikolo gino. “Mwebale nnyo Katonda abakuume”
Buganda ekuza olunaku luno olwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu buli mwaka nga 08th ogwe kkumi. Era nga ku lunaku luno Buganda eba ekuza amefuga gaayo.