
Bya Miiro Shafik
Namirembe – Kyaddondo
Obubaka bwa Kabaka eri ab’enju y’Omugenzi Owek. Amb. William Solomon Kaboga Matovu busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu lutikko e Namirembe.
“Bannaffe amawulire ag’okufa kwa mukwano gwaffe gaatuubye enkyukwe, Buganda efiiriddwa omuntu ow’enkizo kitalo nnyo nnyo” Kabaka Mutebi II
Omuteregga asaasidde nnyo bamulekwa b’omugenzi bonna olw’okufiirwa mukadde waabwe, era asaasidde n’Abekika ky’Engabi olw’okuviibwako omuntu ow’amaanyi mu Kika.
“Twegatta n’Abenganda n’emikwano okukungubagira mukwano gwaffe atambudde naffe mu lugendo lw’okunyweza Nnamulondo n’okuzimba Obwakabaka” Beene.
Magulunnyondo agamba nti “omugenzi abadde mumanyi nnyo mu nsonga z’ebyafaayo by’Obwakabaka okubiira ddala ku mirembe gya Ssekabaka Daudi Chwa II, abadde yenyigira butereevu mu kulungamya n’okuwabula awatali kutya ku buli nsonga ekwata ku Nnamulondo, Abalangira, Abambejja n’Obwakabaka”
Omutanda agamba nti ebbanga lyonna awatali kweganya Owek. Matovu akoze n’obumalirivu n’obuvumu awatali kutiirira Nnamulondo ate mu ngeri eweesa Obwakabaka ekitiibwa.
“Tutambudde naye ekiseera kyonna ng’awa amagezi ku nsonga nnyingi enkulu, alese omukululo munene” Beene
Maasomoogi ategeezeza nti omugenzi yaweereza mu Gavumenti eya wakati mu minisitule ya Foreign affairs mu nsi z’ebweru ez’enjawulo era emirimu gye yagikola bulungi nga muwulize buli gye bamutumanga.
“Twamanyisibwa ku bulwadde obutawanyiza omugenzi okumala akaseera, twebaza abasawo wamu n’abaana abamujjanjabye n’okumulabirira mu kiseera ky’obulwadde, twebaza Katonda olw’obulamu bwe wamu n’emirimu egy’ettendo gyonna gy’aweereza eri Obwakabaka n’Ensi” Ssaabasajja Kabaka
Nnyinimu omugenzi amusabidde Katonda okumuwa empeera emusaanidde.