
Bya Miiro Shafik
Kitovu – Buddu
Empaka z’Omupiira gw’Amasaza 2025 ziguddwawo n’omupiira wakati wa Buddu ne Gomba mu kisaawe kya Sports Arena Kitovu, guwedde Buddu ekubye Gomba ggoolo emu ku bwerere (1-0).
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’aguddewo empaka z’omwaka guno era asinzidde eno n’akkaatiriza ensonga y’omupiira okuwangula, asabye bonna abeetaba mu mupiira okufaayo okukuuma empisa ku kisaawe n’ebweru waakyo, buli muntu yewale ebiyinza okutta empaka naddala effujjo.
Katikkiro yebazizza abawagizi abawagizi abazze mu bungi ku mupiira guno ne yebaza n’abategesi olw’enteekateeka ennungi. Wano asiimye n’omutindo ogwoleseddwa abazannyi kyokka agamba nti enkizo Buddu gy’efunye ku Gomba kwe kusobola okukozesa omukisa ogumu kw’egyo gy’efunye n’eggyamu ggoolo.
“Omupiira ku njuyi zombi Buddu ne Gomba, olugoba oluteebi telubadde na ntomo bulungi era abatendesi balina okwongera okuwagala abateebi, ate nga kuno ndowooza kwe kusoomooza kwa Uganda awamu, tuteeba eggoolo ntono, ate ffe abalabi b’omupiira twagala kulaba ggoolo, tuwangule” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro asabye abantu bongere okuwagira emipiira gyonna egigenda okubaayo sizoni eno, bakuume empisa n’ategeeza nti omupiira bwe gunaawangula mu buli kimu abantu bajja kunyumirwa ne Kabaka asanyuke ne Buganda eyongere okudda ku ntikko.

Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga naye yebazizza abawagizi abazze mu bungi era abasabye okwongera okuwagira emizannyo gyonna okutuuka sizoni lwenakomekkerezebwa. Akubirizza abantu okwegendereza enkozesa y’ekkubo wakati mu sizoni eno beewale obubenje n’embeera endala zonna. Yebazizza abavujjirizi b’empaka zino, kyokka n’asaba abantu okwongera okuvujjirira ttiimu z’Amasaza gaabwe zongere okuvuganya obulungi.
Omwogezi wa Airtel Uganda Ali Balunywa asinzidde wano ne yebaza Obwakabaka olw’emizannyo gino eginyweza obumu mu bantu ba Kabaka, ategeezeza nti baakwongera okugiwagira kubanga gitumbula ebitone n’okutondawo emirimu eri abantu.
Omupiira guno gubadde ogwa kaasameeme ddala era gunyumidde abalabi era Bannagomba bavuddeyo beewera okufitiza Gomba mu gw’okudiŋŋana. Emipiira gya kuddamu ku Lwomukaaga ne Ssande ya wiiki ejja, era emizannyo munaana (8) okuva mu bibinja bisatu (3) gyakubeera mu bisaawe eby’enjawulo.

Omupiira ouguddewo empaka zino gulabiddwa Abataka Abakulu Ab’obusolya okuli n’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka, Abaami Ab’Amasaza, Bassenkulu b’ebitongole n’Abantu ba Beene bangi okuva mu bunyonero bwa Uganda obw’enjawulo.









