Bya Musasi Waffe
Masaka – Buddu
Abaddukanya ttiimu y’essaza lya Buddu banaabidde abadde Omutendesi Steven Bogere mu maaso nga bagamba nti ebintu bibadde tebikyatambula.
Bogere okumugoba yabadde yakamala okuwangulwa ttiimu ya Buluuli 2-1 mu kibinja kya Masengere mu kikopo ky’omwaka guno mu mupiira ogwazanyiddwa ku Lwomukaaga.
Kati balonze abadde omumyuka we Andy Ssali okudda mu bigere bya Bogere abadde yakamala okuwangulira ttiimu eno ebikopo 2 biramba mu mpaka zino.
Buddu eri mu kifo kyakubiri n’obubonero 4 mu kibinja Masengere ekikulembeddwa ttiimu ya Ssingo.